Kkamisona wa Palimenti era nga ye Mubaka omukyala owa Disitulikiti ye Zombo Esther Afoyochan alabudde Babaka banne Abakyala abali mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu obutetantala kufuuka ba nakawanga eri abaami baabwe olw’ebitiibwa bye bafunye, nagamba nti singa babakwata bulungi kijja kubaberera kyangu okunyweza okunyweza obufumbo bwabwe yadde nga baba bagudde mu kalulu.
Afoyochan agamba nti abalonzi basobola okubavaamu naye abasajja tebasobola kubavaamu olw’ensonga nti abasinga obungi ebyobufuzi byabasanga nabasajja baabwe.
Okwogera bino abadde mu Disitulikiti ye Sembabule nga akiikiridde Sipiika wa Palimenti Annet Anita Among mu kujaguza olunaku lwa bakyala elw’ensi yonna,, olwategekeddwa Omubaka omukyala akiikirira Disitulikiti ye Sembabule Mary Begumisa.
Mu kusooka abakulembeze okubadde Sentebe we Sembabule Patrick Nkalubo akukkulumidde Gavumenti ya NRM okusosola mu bakulembeze bwe kituuka ku misaala gyabakukembeze be bitundu, gyayogeddeko nti mitono nyo bwogerageranya ne gya babaka ba Palimenti.
Nkalubo yanyonyodde nti atwala Disitulikiti nnamba kyokka nga awebwa obukadde 2 bwokka singa munne bwe betoloola ekitundu kye kimu Omubaka omukyala afuna ensimbi ezisoba mu bukadde 30 kyagambye nti Gavumenti Elina okukitunulamu.
Wano yakyukidde ababaka nabasaba okuvaayo okulwanirira emisaala gyabakukembeze banaabwe nawa ekyokulabirako nti ba kkansala ba Disitulikiti Ababe bafuna emitwalo 17 Songa abamagombolola bafuna emitwalo 4 gyokka ensimbi zagambye nti tezisobola kubayamba ludda mu Bantu.
Kkamisona Afoyochan mu kwanukula yeyamye okutwala ensonga ye misaala mu Palimenti, nagamba nti ne nsonga yomusaala gwa ba Sentebe be byalo nagwo gw’akulowozebwako.
Oluvanyuma yawaddeyo obukadde 20 okuva ewa Sipiika Annet Anita Among ze yawaddeyo okuyamba okutandika akatale ka bakyala be Sembabule mwe bagenda okuyita okwekulakulanya nga basuubula nokutunda ebirime ne byemikono bye bakola.
Omubaka Begumisa mu kwogera kwe yakunze bannaSembabule okwegatta bakolere wamu okutwala mu maaso ekitundu kyabwe, saako nokusakira abantu ababalonda.
Yanyonyodde nti ekigendererwa ekikulu ekyokukuza olunaku lwa bakyala kwabadde kulaba butya bwe bagenda okutema empenda butya bwe bagenda okutandikawo akatale saako nokusonda ensimbi eziwerera ddala obukadde 180 zebasuubira nti ze zigenda okukola omulimu gwonna.
Obukadde obusoba mu 50 bwe busondeddwa okuva Babaka ba Palimenti nabantu Sekinoomu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com