Tugenda okutuuka ku kizinga kye twasembyayo eky’e Lubya nga obudde buyise. Twasimbulayo okwolekera ekizinga Buvuma (gye twali tusula) nga essaawa eweze 1.00 ey’akawungeezi. Twali tusaabalira mu kibinja ky’amaato mukaaga. Erisooka mwe nnali, wamu ne Ssentebe wa disitulikiti, wolole wange, Dr. Ben Kiwanuka Mukwaya, n’omugoba waalyo.
Amaato amalala ana (4) gaasimbula; olwo eryaliko abaweereza bange n’eryange ne galyoka gagoberera. Ŋŋenda okumala okusiibula enkumuliitu y’abantu abajja mu Ttoffaali nga amaato agaasooka okugolomola gabuliddeyo. Omugoba waffe eryato yalitunuza ku ludda lwa bukiikakkono; so amaato amalala gatunula bukiikaddyo.
Omugoba yawa eryato omuliro nga aluubirira okusanga amaato agaali gatukulembedde. Wolole wange yalaga mangu obweraliikirivu bwe twaseeyeeya okumala ebbanga nga amaato amalala, naddala agaalimu abakuumi, tetugalabako. Yatandika okuwuliziganya ne basirikale banne ku mpulizo abasirikale ze bakozesa mu byempuliziganya. Banne nga nabo beewuunya ekitulobedde okubasanga, so nga bo baali basaze ku muliro.
Naye wadde omugoba yawa eryato omuliro naye abaatusooka okugolomola nga tetubasanga. Eryato eryokubiri, eryaliko abaweereza, nga lyo lituwondera. Omugoba waffe yakanyanga kimu kutugumya nga agamba nti ye ku nnyanja kw’asiiba, awo nti tumwesige okututuusa e Buvuma.
Emisana enkuba yali etonnye, era ebire byali bikutte; waayita ekiseera kitono nga tusimbudde ku kizinga Kirewe ne tubuutikirwa enzikiza ey’amaanyi nga tewali kintu kye tulaba, yadde okulaba emmunnyeenye eyaka ku ggulu. Omugoba yavuga eryato nga alondoola akataala akamyufu ak’omulongooti gw’essimu gwe yali asuubira okuba ogw’e Buvuma.
Omugoba yatutegeeza nga bwe balondoola omulongooti ogwo, buli lwe baba bagoba ku kizinga Buvuma ekiro. Yatutegeeza nti: ‘gubeerako obutaala obumyufu bubiri.’ Ku luno agenda okukakasa nti akataala kali kamu, nga tugenda kugoba. Olwo yali takyekakasa bye yali ayogera, kubanga kyali kyeraga bwerazi nti tubuze; nga ne bannaffe abaali mu maato amalala tetubalabyeko!
Twagoba ku mwalo omugoba waffe gwe yali tamanyi, era twakimanya okuva ku be twasangawo nti twali tugobye mu Busoga! Omwalo gwe twagobako guyitibwa Bwonja, mu disitulikiti eyitibwa Mayuge. Ate olwo omugoba n’atukakasa nga bw’ategedde we yatubulizza era n’atugumya nga ekkubo eritutuusa e Buvuma bw’alitegedde. Yagolomola eryato ne tubulirayo, nga eryato eryokubiri bwe lituwondera.
Bwe twatuuka e buziba, wakati mu nzikiza enkwafu ennyo, omugoba waffe yaddamu okubula, ne tulabira ddala nga tamanyi gyetugenda. Baali bawanyisiganya ebirowoozo wakati we ne Ssentebe Wasswa, eyali agezaako okumulagirira. Kyokka oluusi nga babeera mu kukaayana.
Ekyatuleetera okusoberwa, ye mpulizo ya wolole wange, Ssuuna, okuggwako omuliro; so nga n’essimu buli omu gye yalina nga nazo zaweddeko dda omuliro. Bannaffe ab’amaato ana twali tetukyabawuliza, ate nga n’ekkubo lye tulina okukwata omugoba talimanyi. Wakati mu kukaayana wakati w’omugoba ne Ssentebe wa disitulikiti, wolole wange yababwatukira nga eggulu nga abalagira okusirika!
Ebisingako awo biri mu kitabo Ettoffaali……
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com