OMUSUMBA Aloysias Bugingo ow’ekkanisa ya House of Prayer Ministries esangibwa e Makerere Kikoni yekokkodde akulira ekitongole kya mawulire ki Nation Media Services Kin Kariisa gwagamba nti munyarwanda munne naye asusse okumunafuya n’okumusojja.
Bugingo agamba nti ekyamazima teyegaana Ggwanga lye musajja munyarwanda era nga ne Kariisa kye kimu nti naye okusinziira engeri ebitongole bye (Kariisa) ebyamawulire gye bimukubamu emuletera okwebuuza oba ddala bombiriri banyarwanda.
“Kariisa njagala nkusisinkanemu ombulire kiki kye nakukola okutuuka okunafuyanga bwotyo, era kati Frank Gashumba gwe ngenda okutumayo amumbulize kubanga yatukulira nga Abavandimwe, njagala amubuuze Muvandimwe munno Bugingo omwagazaaki??
Ekyamazima ffenna nze Kariisa tulina abantu baffe wano ne Rwanda naye omusajja ansobedde buli bwe nfuna obuwanguzi afuba nnyo okubunafuya oba kiki???
Nze sinoonya mirimu oba alowooza nti nja kugenda musabe okukola ewuwe nedda, nze ndi musajja akozesa abantu ate abaasoma emirimu nagiteeka wo dda.
Bulijjo mugamba nti saasoma, kati nsomye mazeeko bantikkidde era ne muvaayo ne mugamba nti bye nasomye tebiriiyo, mwerimba nze wendi ate sigenda” Omusumba Bugingo bwe yagambye bwe yabadde abuulira ku sande wakati mu bakkiriza abaabadde bazze okujagulizaako oluvanyuma lw’okumaliriza emisomo.
Bino byonna okuvaayo kiddiridde Omusumba Bugingo okutikkirwa Diguli mu bye ddiini okuva mu Ttendekero lya Kayiwa International University ku lw’okutaaano oluyise.
Oluvanyuma lw’omukolo gwa matikkira walabiseewo ekiwandiiko ekyatambudde ku mikutu gya mawulire ne mitimbagano nga kilaga nti ekitongole kye by’enjigiriza ebyawaggulu kyabadde tekimanyi Ttendekero lya Kayiwa nga elirina ebisanyizo by’okugaba amabaluwa agali ku ddaala lya waggulu.
Oluvanyuma omwogezi we kitongole kya National Council for Higher Education Saul Waigolo yavuddeyo ne yegaana ekibaluwa kye yagambye nti ssi kya kitongole era nakakasa nti ettendekero lya Kayiwa limanyiddwa era lirina ebisanyizo ebijjuvu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com