Joseph Kabuleta ono nga ye mukulembeze we kisinde kya The National Economic Empowerment Dialogue (NEED) asabye abatuuze abawangalira mu bitundu bye Kigezi o okukomya mbagirawo okusuubula ebyamaguzi okuva e bweru we Ggwanga kyagambye nti kino kivuddeko omutindo gwe bilimibwa wano okukka saako n’abalimi obutafunamu.
Kabuleta agamba nti okuva bwe kiri nti Gavumenti yakkiriza ebyamaguzi okumala gayingizibwa mu Ggwanga abalimi ba wano tebalina kye bafunyemu, kubanga ebisinga obungi babitwala mu mawanga agatulinanye okuli Kenya ne Sothern Sudan nga ogenda okwesanga nga emiwendo kwe babigulira giba wansi nnyo bwogerageranya ne bwe babitunda.
“ Wano ewammwe osanga omuntu nga alimye obummonde obuzungu obulungi ennyo kyokka ogenda okulaba nga ate mu kifo kyokubukozesa ne bannansi bafunemu ate bakoseza bajjibwa bweru wa Ggwanga, kino baganda bange kye kisinze okutta obutale bwawano saako n’okuba nga mwe nga abalimi temulina kye mufunyemu.
Naye singa mwe kenyini mweguza ebintu byammwe nga obummonde ne mukolamu kipusi ne bilala kyandibayambye nnyo okufuna ku sente ezitegerekeka” Kabuleta bwe yagambye.
Okwogera bino yabadde mu bitundu bye Kigezi nga asisinkanye abantu abawangalira eno mu kawefube gwalimu okwetoloola e Ggwanga nga asomesa abantu butya bwe bayinza okukozesa eby’obugagga ebisangibwa mu bitundu mwe babeera okwekulakulanya.
Yagambye nti ekizibu e Ggwanga kyeririna kwe kuba nti bamusiga nsimbi abasing obungi bonna bakolrera bantu abali mu Gavumenti eri mu buyinza be yayogeddeko nga abatalina nnyo kye bafaayo ku nkulakulana ya Ggwanga.
Yagambye nti Abayindi abasinga mu Ggwanga saako n’aBachina bakolera ba nagagga abali mu Gavumenti era nga bano be bakozesa okunyigiriza bannaUganda.
Yagambye nti ekyetaagisa ye Gavumenti okugaana ebintu byaffe wano okufuluma e Ggwanga nga omukisa ogusooka gulina kuwebwa bannaNsi nabo bafunemu era bejje mu bwavu.
“ Kye mbasaba mwe kukozesa eby’obugagga ebisangibwa mu bitundu byammwe saako ne ttaka byokka bye bigenda okubayamba okwekulakulanya sso ssi kintu kilala kyonna” Kabuleta bwe yagambye.
Ekisinde kya NEED mu kiseera kino kimaze okwetoloola ebitundu okuli Busoga, Buganda, Bugisu, Bukedi, Teso, Sebei, Lango, Acholi, West Nile, Tooro, Rwenzori ne Kigezi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com