• Contact Us
  • About Us
  • Advertise
  • Donate
Monday, January 30, 2023
  • Login
Watchdog Uganda
Advertisement
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
    • Africa News
    • Community News
    • Luganda
    • Sports
      • Football
      • Motorsport
  • Op-Ed
    • #Out2Lunch
    • Conversations with
    • Politics
    • Relationships
  • Business
    • Agriculture
    • CEOs & Entrepreneurs,
    • Companies
    • Finance
    • Products
    • RealEstate
    • Technology
    • Travel
  • Entertainment
    • Lifestyle
    • Showbiz
  • Salon Mag
  • Special Report
    • Education
    • People
    • Voices
  • Reviews
    • Products
    • Events
    • Hotels
    • Restaurants
    • Places
  • Video
  • Donate
No Result
View All Result
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
    • Africa News
    • Community News
    • Luganda
    • Sports
      • Football
      • Motorsport
  • Op-Ed
    • #Out2Lunch
    • Conversations with
    • Politics
    • Relationships
  • Business
    • Agriculture
    • CEOs & Entrepreneurs,
    • Companies
    • Finance
    • Products
    • RealEstate
    • Technology
    • Travel
  • Entertainment
    • Lifestyle
    • Showbiz
  • Salon Mag
  • Special Report
    • Education
    • People
    • Voices
  • Reviews
    • Products
    • Events
    • Hotels
    • Restaurants
    • Places
  • Video
  • Donate
No Result
View All Result
Watchdog Uganda
No Result
View All Result

Musajja wa Kayihura, Agasirwe kyadaaki kkooti ya maggye emuyimbudde oluvanyuma lwe myaka 4 mu kkomera

Kizito Moses Buule by Kizito Moses Buule
8th March 2022 at 10:44
in Luganda, News
0 0
0
Musajja wa Kayihura, Agasirwe kyadaaki kkooti ya maggye emuyimbudde oluvanyuma lwe myaka 4 mu kkomera

Nixon Agasirwe oluvanyuma lw'okuyimbulwa kkooti e Makindye

0
SHARES
0
VIEWS
ShareTweetSendShare

KKOOTI ya maggye  e Makindye kyadaaki eyimbudde omupoliisi Nixon Agasirwe ku kakalu kaayo oluvanyuma lw’okumala emyaka 4 mu nkomyo.

Agasirwe ono nga ye yali akulira ebikwekweto eby’enjawulo mu kitongole kya Poliisi ye Ggwanga  yakwatibwa mu mwaka gwa 2018 nasibibwa mu kkomera lya maggye e Makindye.

Ono nga era yali wa kulusegere nnyo ne yali akulira Pliisi mu kiseera ekyo Gen. Kale Kayihura emirundi mingi abantu be babadde bagezaako okumweyimirira nga bigaana okutuusa ku mande akulira kkooti ya amaggye Lt. Gen. Andrew Gutti bwe yakkirizza ayimbulwe.

“Nzikirizza okukuyimbula ku kakalu ka kkooti naye olina okukolagana ne bilagiro ebikutereddwako obutabimenya, era bwe kinazuulibwa nti olina by’omenye ajja kuddamu okukwatibwa.

Tolina kutambula kusukka Kampala na Wakiso, olina okujja okweyanjula mu kkooti emirundi 2 buli mwezi, olina okusasula ensimbi obukadde 30 ezitali za buliwo, ate abakweyimiridde basasule ensimbi obukadde 50 nazo nga ssi zabuliwo” Gutti bwe yategezezza.

Yayongeddeko nti Agasirwe alina okuleeta ebitambuliso bye bynna mu kkooti ya maggye, nga kino kitegeeza nti takkirizibwa kutambula kufuluma ggwanga.

Abamweyimiridde kuliko mugandawe Aloysias Muhangi ne Labana Muhabwe omupoliisi eyawummula.

Avunanibwa emisango okuli okuwamba n’okuzaayo munnansi wa  Rwanda Lt. Joel Mutabazi nga ono yali mukuumi wa Pulezidenti Paul Kagame mu 2013, saako ne Jackson Kalemeera nga naye yaddizibwayo e Rwanda munkukutu ekikontana n’amateeka agafuga eby’okwerinda mu ggwanga.

Ono era avunanibwa n’eyali Ssabapoliisi we Ggwanga  Gen Kale Kayihura, Col. Ndahura Atwooki, Herbert Muhangi eyali akulira ekitongole kya Flying Squard, Patrick Muramira, Jonas Ayebaza,  Joel Aguma, James Magada, Benon Atwebembeire, Abel Tumukunde ne Faisal Katende.


Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com

Tags: Gen. Andrew GuttiGeneral Court Martialkale kayihuraNixon Agasirwe
Previous Post

MP storms police station over arrest of fishermen 

Next Post

WOMEN’S DAY: Female celebrities in Uganda and the cars they drive

Next Post
WOMEN’S DAY: Female celebrities in Uganda and the cars they drive

WOMEN'S DAY: Female celebrities in Uganda and the cars they drive

Contact Information

Watchdog Uganda is a portal for solution journalism, trending news plus cutting edge commentaries in the fields of politics, security, business, tourism, entertainment, technology, agriculture, climate change, environment, public health et al. We also give preference to Ugandan community news and topical discussions. The portal also publishes community news and topical discussions.

Plot 23, Yusuf Lule Road
PO Box 7661 Kampala, Uganda
Office Line: +256 777 286 815
Email: editorial@watchdoguganda.com
To Advertise:Click here

Follow Us on Twitter

Tweets by watchdogug

Follow Us on Facebook

  • About
  • Advertise
  • Donate
  • Contact

© 2021 Watchdog Uganda

No Result
View All Result
  • News
  • Business
  • Op-Ed
  • Entertainment
  • Travel
  • Special Report
  • Video
  • Luganda

© 2021 Watchdog Uganda

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In