OMUKULEMBEZE we Ggwanga Yoweri Museveni gye buvuddeko yatongozza enkola ya Parish Development Model nga agamba nti eno yegendereddwamu okutaasa bannaUganda okuva mu bwavu, era nga obuwumbi 490 butereddwa ku bbali okulaba nga abantu baganyulwa mu ntekateeka eno mu buli muluka mu Uganda.
Kyokka Joseph Kabuleta nga ono ye mukulembeze we kisinde kya National Economic Empowerment Dialogue (NEED) agamba nti kino tekigenda kusoboka olwe mivuyo egy’etobese mu nkola eno.
Bwe yabadde ayogerako n’abatuuze abawangaalira mu bitundu bye Tooro ku lw’okutaano Kabuleta yagambye nti enkola eno talaba bwegenda kuganyula bannaUganda, nategeeza nti yandiba nga andala zonna Gavumenti z’ebadde eteekamu ensimbi empitirivu kyokka era ne zireka abantu nga bakaaba bukaabi.
Yanokoddeyo eya Operation Wealth Creation, Bonna Bagaggawale, Emyooga, Entandikwa ne ndala zonna, ze yayogeddeko nga eziretebwa okuyamba abagagga bokka saako naabo ababa bawereddwa obuvunanyizibwa okuzitambuza okutuusibwa ku bantu.
“Silina nnyo kyamaanyi kye nsuubira mu nkola eno, naye nga nange omuntu nandyagadde abantu baffe abawansi mukulakulane, kyokka ekinti ekyatongozebwa kifu nnyo yadde nga kyateekebwamu ensimbi mpitirivu, gwe tebereza abantu okubasomesa obusomesa obuwumbi 3 bugenda kuggwawo kyokka nga abantu bagenda kubawa obukadde 80 buli muluka simanyi oba awo tuba tukola ebiliyo” Kabuleta bwe yagambye.
Yagambye nti waliwo ekobaane elyokuleka bannaUganda nga bali mu bwavu bwe batajja kuvaamu mangu olwensonga nti ebintu bye banditaddemu amaanyi nga eby’obulimi n’obulunzi Gavumenti ssi byeliko elowooza kuwa bantu sente.
“Gavumenti ya Pulezidenti Museveni yayonoona obutale bwe bilime bwonna ebyali biwa bannaUganda sente omuli emmwanyi, Vanilla, amajaani ne bilala nga kati abalimi tebakyabifunamu nga bwe kyali, nga kati elowooza kubawa sente za bwerere ekitali kituufu”Kabuleta bwe yayongeddeko.
Yawadde amagezi Gavumenti okusooka okusomesa abantu butya bwe bayinza okukozesa eby’obugagga ebili mu bitundu gye bawangaalira bekulakulanye sso ssi kubakasukira sente ze bagenda okulya zigwewo nga tebafunyemu yadde.
Omu ku bakungu mu bwakabaka bwa Tooro Simon Mugisa yagambye nti tewali ngeri bantu ba wansi gye bayinza kwekulakulanya nga ebbeyi ye bintu eyongera kwekanama, nagamba nti Gavumenti ne bwenabawa sente nga ebikozesbwa mu mbeera eyabulijjo bili waggulu tebagenda kuganyulwa.
Mu kiseera kino ekisinde kya NEED kimaze okwetoloola e Ggwanga nga kati amaze okwetoloola ebitundu okuli Busoga, Buganda, Bugisu, Bukedi, Teso, Sebei, Lango, Acholi, West Nile ne Tooro.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com