Eyaliko Minisita we by’obulamu ebisookerwako era nga ye Mubaka omukyala owe Tororo Sarah Opendi agamba nti Ssabaminisita Robina Nabbanja n’abamyukabe basusse okwebulankanya mu Lukiiko lwe Ggwanga olukulu, kyagamba nti kivuddeko ensonga nnyingi ezetaagisa okutangaazibwa okuva ku ludda lwa Gavumenti okusigala mu bbanga.
Bano be yayise abavubi ba Museveni agamba nti emirundi mingi tebalabikako ekiletedde Nampala we kibiina ekiri mu buyinza NRM okweddiza obuvunanyizibwa bwabwe ekitali mu mateeka agafuga engeri okuteesa mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu gye kutambuzibwamu.
Nga mukambwe nnyo Opendi yajjukizza ababaka nga bwe waaliwo ow’ekitiibwa Amama Mbabazi ne Ruhakana Rugunda be yayogeddeko nti buli kaseera babeerangawo okutangaaza ku ludda lwa Gavumenti, ate bwe batabeerangawo Ow’ekitiibwa GeN. Moses Ali yagattangawo ebintu ne bitambula bulungi era ababaka ne banyonyoka.
“Owekitiibwa Sipiika tetumanyi kyakukola kubanga abavubi ba Pulezidenti tewali alabikako kati ani gwe tuba tuteeka ku nninga anyonyole e ggwanga teligenda kutambuzibwa bweliti” Bwe yagambye.
Ababaka bazze beemulugunya ku SsabaMinisita n’abamyuka be okuba nga tebalabikako mu lukiiko emirundi egisinga songa wabaawo ensonga nnyingi eziba zetaaga okutangazibwa oludda lwa Gavumenti, olumu ekiletera Nampala w’ababaka ba NRM Thomas Tayebwa okusituka nga tewali kya kukola
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com