• Contact Us
  • About Us
  • Advertise
  • Donate
Sunday, August 14, 2022
  • Login
Watchdog Uganda
Advertisement
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
    • Africa News
    • Community News
    • Luganda
    • Sports
      • Football
      • Motorsport
  • Op-Ed
    • #Out2Lunch
    • Conversations with
    • Politics
    • Relationships
  • Business
    • Agriculture
    • CEOs & Entrepreneurs,
    • Companies
    • Finance
    • Products
    • RealEstate
    • Technology
    • Travel
  • Entertainment
    • Lifestyle
    • Showbiz
  • Salon Mag
  • Special Report
    • Education
    • People
    • Voices
  • Reviews
    • Products
    • Events
    • Hotels
    • Restaurants
    • Places
  • Video
  • Donate
No Result
View All Result
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
    • Africa News
    • Community News
    • Luganda
    • Sports
      • Football
      • Motorsport
  • Op-Ed
    • #Out2Lunch
    • Conversations with
    • Politics
    • Relationships
  • Business
    • Agriculture
    • CEOs & Entrepreneurs,
    • Companies
    • Finance
    • Products
    • RealEstate
    • Technology
    • Travel
  • Entertainment
    • Lifestyle
    • Showbiz
  • Salon Mag
  • Special Report
    • Education
    • People
    • Voices
  • Reviews
    • Products
    • Events
    • Hotels
    • Restaurants
    • Places
  • Video
  • Donate
No Result
View All Result
Watchdog Uganda
No Result
View All Result

Nsonyiwa!!! Judith Babirye yetondedde omukyala gwe yatwalako omusajja, Abalokole n’abaana abato

Kizito Moses Buule by Kizito Moses Buule
24th January 2022 at 11:40
in Luganda, National, News
46 2
0
Nsonyiwa!!! Judith Babirye yetondedde omukyala gwe yatwalako omusajja, Abalokole n’abaana abato

Eyali omubaka Judith Babirye ne Lukia Ntale gwe yatwalira omusajja

24
SHARES
1.2k
VIEWS
ShareTweetSendShare

EYALI omubaka omukyala owa Disitulikiti ye Buikwe Judith Babirye avuddeyo ne yetondera omukyala gwe yatwalako omusajja Lukia Ntale saako n’abakkiriza bonna abalokole bamusonyiwe nga agamba nti kibadde kyetaagisa kubanga akizudde mu mutima gwe nti tatambudde bulungi nga omuntu ensi gwe yali ekkiririzaamu.

Babirye nga ono yali muyimbi nakinku owe nnyimba ez’abalokole okwetonda yasinzidde mu Ggwanga lya Canada gyali kati, gyagamba nti agezaako kwezza obuggya mu mwoyo saako n’okufumitiriza ku byazze ayitamu nga omuntu eyali omututumufu.

“Bannauganda mwenna mbasaba ntuuse okwetonda kwange gye muli naddala omukyala gwe natwalako omusajja, Mukyala Ntale nkusaba onsonyiwe kubanga nkimanyi kizibu mu kiseera kino naye mukama akukkeko onsonyiyire ddala.

Neetondera abalokole bonna mu Ggwanga nti banange munsonyiwe kubanga ekyamazima nasesetuka nenva ku Katonda, naye mu kiseera kino ngezaako okwegatta gatta ndabe nga nzira mu mbeera nga Katonda ye mubeezi wange.

Neetondera abaana bonna abato abaali bantwala nga eky’okulabirako olw’ennyimba zez’omwoyo ze nayimbanga nti mwenna munsonyiwe ekyamazima saalaga kifananyi kilungi mu maaso gammwe.

Nyongera okwetondera abasumba n’abantu bonna mu Ggwanga lyange Uganda ebikolwa bye nakola nga byabamenya omutima nti munsonyiwe ate mwongere okunsabira ku mawanga eno gyendi, nsobole okuddamu okwetereza mu mwoyo nga Yesu bwanyambako” Judith Babirye bwe yategezezza mu katambi ke yatadde ku mikutu emigatta bantu.

Babirye bwe yamala okuwangula ekifo ky’obubaka bwa Palimenti, yatandika okupepeya ne mubaka munna Paul Sebulime eyali akiikirira munisipaari ye Njeru era ekyaddirira kwe kufumbiriganwa ku mukolo ogwali mu kifo ekyekusifu mu Kampala.

Mu kusooka mukyala wa Sebulime owe mpeta Lukia Ntale yavaayo nategeeza nga bwe baali abafumbo abaalina n’abaana era nagezaako okusattulula Babirye ne Sebulime kyokka ne bamusinza amaanyi era ne bafumbiriganwa.

Oluvanyuma ebintu byeyongera okwononekera Babirye bwe yatandika okufuna obulwadde obwasibuka ku lubuto lwe yali afunye saako n’okwogererwa ebigambo ebiyitirivu okuva mu bannaUganda nasalawo okugenda mu Ggwanga lya Canada ajjanjabibwe.

Amawulire gaatandika okufuluma nti Babirye yali ssi wakudda mangu nti era yali amaze n’okufuna obutuuze.

Mu kiseera kino abuulira njiri saako n’okuyimba ennyimba ze ezaali zinyumira ennyo abantu saako n’okubazza emyoyo.


Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com

Tags: Judith BabiryeLukia NtalePaul Sebulime
Previous Post

A year since President Museveni’s re-election

Next Post

Tributes continue to pour in for fallen BoU Governor Mutebile 

Next Post
Crane Bank closure: Bank of Uganda now runs to Supreme Court to challenge Sudhir’s Court of Appeal win

Tributes continue to pour in for fallen BoU Governor Mutebile 

Contact Information

Watchdog Uganda is a portal for solution journalism, trending news plus cutting edge commentaries in the fields of politics, security, business, tourism, entertainment, technology, agriculture, climate change, environment, public health et al. We also give preference to Ugandan community news and topical discussions. The portal also publishes community news and topical discussions.

Plot 23, Yusuf Lule Road
PO Box 7661 Kampala, Uganda
Office Line: +256 777 286 815
Email: editorial@watchdoguganda.com
To Advertise:Click here

Follow Us on Twitter

Tweets by watchdogug

Follow Us on Facebook

  • About
  • Advertise
  • Donate
  • Contact

© 2021 Watchdog Uganda

No Result
View All Result
  • News
  • Business
  • Op-Ed
  • Entertainment
  • Travel
  • Special Report
  • Video
  • Luganda

© 2021 Watchdog Uganda

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In
Posting....