OMUKULEMBEZE we kisinde kya National Empowerment Dialogue NEED Joseph Kabuleta alaze obwenyamivu eri abaakola Ssemateeka we Ggwanga gwagamba nti awa Pulezidenti amaanyi mangi nnyo saako ne mirimu egy’andikoleddwa abalala byonna ne bimwetuumako olwo abantu ba wansi ne batafunamu.
Ono agamba nti era eno yeemu ku nsonga lwaki bannaUganda tebafunye mu byabugagga ebisangibwa mu bitundu byabwe nti kubanga bulijjo balina kulinda mukulembeze wa Ggwanga kubasalirawo kubyo kyagamba nti kyabulabe.
“Pulezidenti akozesa omukisa ogwo ogumuwebwa Ssemateeka okusalawo saako n’okukozesa eby’obugagga nga bwayagala mpozzi ne banne abatonotono, olwo mwe ne babaleka nga mweyaguza lujjo” Kabuleta bwe yagambye.
Yanyonyodde nti nga Ssemateeka tanaterezebwa bbo nga aba NEED bagenda kugenda mu maaso n’okulwanirira, okusomesa saako n’okukunga abatuuze okumanya butya bwe basobola okuganyulwa mu by’obugagga ebisangibwa mu bitundu gye babeera.
Okwogera bino Kabuleta yabadde mu lukungaana mu Kampala ku lw’okutaano olwabadde ku mulamwa “Buganda gye twagala elina kuba etya” era nga lwetabiddwamu bannakisinde kya NEED okuli Charles BasajjaMoses Matovu, Asuman Odaka ne Joe Nakibinge.
Kabuleta era yajjukizza abantu mu Ggwanga okuzuukuka kubanga ebyabwe bitwalibwa abali mu buyinza nga beebase kye yagambye nti bwe banazuukukira nga byonna biweddewo.
Munnabyabufuzi era eyaliko Minisita mu Gavumenti ya Ssabasajja Owek. Israel Mayengo eyabadde omwogezi omukulu yagambye nti ebizibu bye Ggwanga bisobola okumalibwawo singa Pulezidenti akkiriza okutondawo abakulembeze abalala 4, nga bano be baba bakulira ebitundu eby’enjawulo okusobola okutuusa eddoboozi lya bantu ba wansi saako n’okwekolera ku nsonga zaabwe ezibaluma zikolweko.
Ekisinde kya NEED ekyatondebwawo emyezi miono emabega kitambudde e Ggwanga lyonna nga kitambuza enjiri ekwata ku bannaNsi okulwanirira eby’obugagga eby’ensibo mu bitundu byabwe nabo basobole okubifunamu beekulakulanye.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com