MEEYA wa Kampala Erias Lukwago ajjeewo ebibadde bigambibwa nti agenda kwesimbawo ku bwa Pulezidenti ku kaadi ye kibiina kya FDC mu kulonda okubindabinda.
Ono kati kikakasiddwa nti agenda kuvuganya ku bwa Loodi Meeya ekifo kyalimu kati wansi we kibiina kya FDC, era nga empapula amaze okuzijjayo ku kitebe kye kib iina e Najjanankumbi.
Lukwago yeesogga ekibiina kya FDC sabiiti 2 emabega era abamu ku bannaUganda ne bagamba nti oba oli awo ono yali ayagala kuvuganya ku kifo kya bwa Pulezidenti mu kulonda kwa 2021 nga akozesa ebendera ya FDC olw’okuba waaliwo amawulire nti omutandisi we kibiina kino Dr. Kiiza Besigye yali tagenda kuddamu kuvuganya.
Ssentebe we kibiina kya FDC Patrick Oboi Amuriat bwabadde ayogerako ne bannamawulire oluvanyuma lwa Lukwago okunona empapula agambye nti tayinza kukijja mu ndowozaye nti Besigye tajja kwesimbawo ku bwa Pulezidenti, nagamba ka bajira balindako ekiseera ekituufu kituuke bajja kulangirira agenda okuvuganya ku Kaadi yaabwe
Lukwago nga yali memba we Kiiina kya DP lukulwe era nga alina n’obwammemba obwenkomeredde yasalawo okwegatta ku FDC gye buvuddeko, kyokka nagamba nti tasobola kuzzaayo kaadi ya DP kubanga yali yakugitereka nga ekijjukizo.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com