• Contact Us
  • About Us
  • Advertise
  • Donate
  • Login
Watchdog Uganda
Advertisement
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
    • Media Outreach Newswire
    • Africa News
    • Tourism
    • Community News
    • Luganda
    • Sports
      • Football
      • Motorsport
  • Op-Ed
    • #Out2Lunch
    • Conversations with
    • Politics
    • Relationships
  • Business
    • Agriculture
    • CEOs & Entrepreneurs,
    • Companies
    • Finance
    • Products
    • RealEstate
    • Technology
  • Entertainment
    • Lifestyle
  • People
    • Showbiz
      • Salon Mag
  • Special Report
    • Education
    • Voices
  • Reviews
    • Products
    • Events
    • Hotels
    • Restaurants
    • Places
  • WD-TV
  • Donate
  • China News
No Result
View All Result
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
    • Media Outreach Newswire
    • Africa News
    • Tourism
    • Community News
    • Luganda
    • Sports
      • Football
      • Motorsport
  • Op-Ed
    • #Out2Lunch
    • Conversations with
    • Politics
    • Relationships
  • Business
    • Agriculture
    • CEOs & Entrepreneurs,
    • Companies
    • Finance
    • Products
    • RealEstate
    • Technology
  • Entertainment
    • Lifestyle
  • People
    • Showbiz
      • Salon Mag
  • Special Report
    • Education
    • Voices
  • Reviews
    • Products
    • Events
    • Hotels
    • Restaurants
    • Places
  • WD-TV
  • Donate
  • China News
No Result
View All Result
Watchdog Uganda
No Result
View All Result

Olunaku lwe nasisinkana Gen. Kasirye Ggwanga: Embwa, Emmundu, Abaana, Galubindi n’obutonde bibadde kikulu nnyo mu bulamu bwe

Kizito Moses Buule by Kizito Moses Buule
5 years ago
in National, News, Politics
22 1
Munnamawulire Moses Kizito Buule nga abuuza ku Gen. Kasirye Ggwanga lwe yamusisinkana ku Faamu ye E Banda Kyandaaza

Munnamawulire Moses Kizito Buule nga abuuza ku Gen. Kasirye Ggwanga lwe yamusisinkana ku Faamu ye E Banda Kyandaaza

ShareTweetSendShare

OBULAMU bwa munnamaggye Gen. Samuel Wasswa Kasirye Ggwanga Gawalaeggabi eyatuvudde ku maaso gye buvuddeko buli muntu eyali amusisinkanyeko amwogerako bubwe saako n’olugero buli muntu ayogera lulwe.

Amannya gange nze Moses Kizito Buule ndi munnamawulire agakoledde kati emyaka egisoba mu 8, nga ennaku z’omwezi 20.12.2019 nayitibwa mukadde waffe omugenzi kati Gen, Kasirye Ggwanga nga ansabye mukyalireko wali ku Faamu ye emanyiddwanga Camp David esangibwa ku kyalo Banda Kyandaaza mu Gombolola ye Nakisunga e Mukono.

Olw’okuba nange nzaalibwa ku kimu ku bitundu ebirinaanye Faamu eno nasooka ne ntyamu kko olw’okuba mmaze ebbanga nga mpulira nti mukambwe nnyo, era nga muwulirako ne ngambo endala nti akuba abantu kibooko, abasibira ku faamu ye ne bilala kale nafunamu okutya nga omuntu, naye ne nguma nga omusajja eyatendekebwa omulimu gwa mawulire ne nsalawo okugenda mukyalireko tunyumyemu.

Nasalawo obutagenda nzekka nategezaako munnamawulire munange MIKE SEGAWA amperekereko tugende ffenna kubanga naye yali yantegeezaako emabega nga bwe yali ayagala okubaako emboozi eyakafubo gyanyumyamu ne Gen Ggwanga.

Olunaku lwe twalagaana nga lutuuse twessa mu ddene ne tugenda e Camp David okusisingana Ggwanga, era bwe twatuuka ku Geeti esooka eyali yakolebwa mu miti twasooka ne tulowooza oba tubuze kubanga twali tusuubira okusanga amatiribona ga geeti kubanga amaka ga Genero omulamba mu Uganda wano omuntu yenna aba asuubira nti gaamaanyi okusinziira ku kitiibwa kye.

Bwe twatunula ebbali twalabawo weema eyali enkadde ddala era omwafubutuka omusilikale wa UPDF eyali abagalidde omugemera wala natubuuza kye twali twagala, mu buwombeefu obungi ne tumuddamu nti twali bagenyi ba Gen. Ggwanga, najjayo ekitabo kyabagenyi ne tuwandiikamu.

Ono yatulagira okweyongerayo ku geeti ey’okubiri nga wano ate era we twasanga abaselikale abalala ne bakola mu mulimu gw’okutwaza saako n’okutubuuza ffe baani abaagala okwogera ne mukama waabwe ku ssawa ezo kubanga yali alabika nga awummuddemu kko.

Twabeyanjulira nga bannamawulire omu kubo nagamba nti yali amugambye nti alina abagenyi, kwe kumukubira essimu ne bamutegeeza nti Buule ne Segawa baatuse we bali mu Faamu, yabalagira batutwale abagenyi we batuukira ne twambuka mu miti emingi saako ne bitooke tugenda okuzza amaaso nga ku weema kwe tulaba omukulu mwe yali asula ekyatwewunyisa ennyo kubanga twali tusuubira Goloofa.

Ggwanga atwaniriza mu butongole ku Campa David

Yavaayo mu weema naye nga alabika mukoowu nnyo kyokka ekyasinga okutwewunyisa kwe kututegeeza nga bwe yalina okutwaniriza mu butongole e Camp David, wano yasikayo emmundu ye era nagikookinga mu ngeri ey’olusaago ne kyaddirira kwe kukuba amasasi 3 mu bbanga ekyatutiisa ennyo, kyokka nga abantu abaali mu nnimiro nga balima saako nabaselikale be tebekangamu yadde.

Wakati mu kutya twebuuza ekituleese ewa munnamaggye Ggwanga, naye twamala ne tuguma kubanga ye yali yatuyise nga mikwano gye.

Awo yatulagira okusemberera weema we yali atudde naye nga amagulu ffena gatukankana olwe Mbwaye emanyiddwa nga Bbo eyali ennene okukira empologoma nga nayo etwekebejja okukamala.

Oluvanyuma Ggwanga yafuluma mu weema ye nga alina emmundu ye ennene gye yali akozesezza okukuba amasasi mu bbanga, pakiti ya sigara saako ne ccupa ya Uganda waragi ekimu ku bintu ebyayongera okututiisa ennyo.

Yatubuuza mu ddoboozi ery’omwanguaka nti mukimyeki wano? era mungambaki? kino nakyo kyatukuba wala kubanga twali tumanyi nti amanyi lwaki wetuli naye ate okutubuuza twalaba nga oba oli awo tuli mu kifi kikyamu, kyokka ne tumujjukiza nti ye yatuwa olunaku olwo okugenda tunyumyemu.

Abakuumi babuza Galubindi ekyaggisaayo emmundu

Wakti nga emboozi yaffe naye etandise okugwa amakerenda Ggwanga yakizuula nti yali talina Galubindi ze ku maaso, era natusaba okumusonyiwa kubanga tatera kwogera na bantu nga tataddeko Galubindi olw’okuba tayagala bantu kulaba maaso ge nti mamyufu nnyo gayinza okubatiisa.

Bwe yeekuba mu weema Galubindi teyazisangayo era awo yakomawo nga akyukidde ddala kuba amangu ago yayita omu ku bakuumi be namusoya kajogojogi we bibuuzo ku ngeri ki Galubindi ze gye zaabuze awo yali akyatama ttama naasikayo emmundu ne kigendererwa eky’okumukuba amumenye amagulu ne tutya nti ayinza okutta omuntu nga wetuli, oluvanyuma kye twazuula nti yali asaaga.

Abakuumi ba Ggwanga babadde bamumanyi era nga bamuwulira nnyo kubanga twalaba nga gwe basuubiza okumenya amagulu tafaayo agenda mu maaso nakukola mirimu gye nakyo ekyatwewunyisa ennyo naye emitima ne gikakkana.

Awo yakubira essimu omuntu gwe bayita Yasiin gwe twategeera oluvanyuma nti ye yali Ddereva we nga amulagira okuggya ensimbi mu bbanka saako ne nkozesa yaazo, era naamulagira aleete abalenzi mu bwangu kubanga yalina okubatulaga.

Ggwanga abadde nabaana abato

Tuba tuli awo ne zireeta emmotoka 2 okwali eya UPDF saako ne Harrier emanyiddwanga Kawundo omwafubutuka abalezi abato myaka 5-8 basatu ne beesogga ekifuma kya Genero ne ssanyu elingi, bano nno okusooka twali tumanyi bazzukulu oluvanyuma Ggwanga yatutegeeza nti baali baana be bwoya ne twewunya enkola za Genero ku myaka 67 gye yalina mu kiseera ekyo nga ate akyalinayo nabato.

Mu mmotoka era mwalimu omukyala eyali mu myaka nga 30 naye gwe twali tulowooza nti yali muwala we kyokka natutegeeza nti ye mukyala we era yamukuuma mu kiseera ekyo.

Bano bonna baali batambudde ne weema mwe baalina okusula kubanga ku faamu yeyisa nga mujaasi nga nabaana yadde bato naye baalina okugoberera enkola ze

Wano Galubindi ezaali zivuddeko embeteza zaalabika era nazisaako ku maaso, zino nga yali yazerabidde mu mmotoka era Yasiin ye yazimujjukiza.

Ggwanga twamusanga alina ekiwundu kye ssasi ku kigere

Nagezaako kwetegereza Ggwanga ne nkizuula nti yalina ekiwundu ku kigere ekisajja ekyali kikyavaamu omusaayi era nafuna obuvumu okumubuuza kiki ekyali kimutuuseeko.

Mu kwanukula Gwanga yantegeeza nti yali yeekubye essasi mu kigere nga agezaako okutaasa Embwa ye Bbo eyali ekaaba ennyo mu kiro nga waliwo empisi egikanze, nga bwe yakimanya nti empisi yali eyagala kulya mbwa ye kwe kujjayo emmundu alwanagane nayo ebyembi nga emmundu esula essasi liri mu chamber nakwata ku mmanduso essasi eryasooka lyasibira ku kigere.

Ekimu ku kyatwewunyisa twali tulowooza nti yali agenda ekiwundu kukitwala mu ddwaliro, kyokka yatugamba nti eyo tagendayo era yakwata enfuufu natabikamu obuganga bwamasasi nayiwa mu kiwundu nga lye ddagala lye yakozesa.

Oluvanyuma twanyumya ku nsonga ezenjawulo omwali ez’ebyobulimi, ez’ebyobufuzi, obuwanga saaako n’obulamu era natusibirira entanda okwali amatooke ne tuvaayo.

 

 


Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com

Share4Tweet3SendShare

Related Posts

News

President Museveni calls on Africa to defend family values and secure economic sovereignty 

9th May 2025 at 19:52
Conversations with

HAKIM KYESWA: Bobi Wine’s Tribal Hypocrisy, A Failed Attempt to Rewrite History

9th May 2025 at 09:15
Business

Africa AI Summit 2025 at Speke Resort Munyonyo Highlights AI’s Role in Continent’s Future

8th May 2025 at 21:56
Next Post
Businessman Sudhir Ruparelia

Sudhir asks fired Sanyu FM staff to reapply for jobs

  • Prostitution in Uganda- Courtesy Photo

    10 dangerous hotspots known for prostitutes in Kampala

    974 shares
    Share 390 Tweet 244
  • Sudhir’s son Rajiv Ruparelia perishes in fatal motor accident 

    48 shares
    Share 19 Tweet 12
  • President Museveni proposes neutral Tororo city as compromise in Japadhola-Iteso dispute 

    18 shares
    Share 7 Tweet 5
  • President Museveni applauds Dei Biopharma Founder Dr. Magoola over US patent for cancer treatment

    14 shares
    Share 6 Tweet 4
  • President Museveni calls for action against key bottlenecks undermining public service

    14 shares
    Share 6 Tweet 4
Facebook Twitter

Contact Information

Watchdog Uganda is a portal for solution journalism, trending news plus cutting edge commentaries in the fields of politics, security, business, tourism, entertainment, technology, agriculture, climate change, environment, public health et al. We also give preference to Ugandan community news and topical discussions. The portal also publishes community news and topical discussions.

Email: editorial@watchdoguganda.com
To Advertise:Click here

Latest News

President Museveni calls on Africa to defend family values and secure economic sovereignty 

9th May 2025 at 19:52

HAKIM KYESWA: Bobi Wine’s Tribal Hypocrisy, A Failed Attempt to Rewrite History

9th May 2025 at 09:15

Check out

  • Trending
  • Comments
  • Latest
Minister Muruli Mukasa

LIST: New salary structure for civil servants starting July 2020 out; scientists, lecturers get juicy pay rise

24th May 2020 at 10:45
Pregnant woman

Shock as 17-year old boy impregnates his two sisters during Covid-19 lockdown 

17th June 2020 at 08:17
Sudhir Ruparelia has dominated the Uganda rich list for more than a decade

Billionaire Sudhir’s wisdom on how to invest in real estate

0

How a boy’s destiny turned from cotton grower to communications guru

0

President Museveni calls on Africa to defend family values and secure economic sovereignty 

9th May 2025 at 19:52

HAKIM KYESWA: Bobi Wine’s Tribal Hypocrisy, A Failed Attempt to Rewrite History

9th May 2025 at 09:15

© 2025 Watchdog Uganda

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In
No Result
View All Result
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
    • Media Outreach Newswire
    • Africa News
    • Tourism
    • Community News
    • Luganda
    • Sports
      • Football
      • Motorsport
  • Op-Ed
    • #Out2Lunch
    • Conversations with
    • Politics
    • Relationships
  • Business
    • Agriculture
    • CEOs & Entrepreneurs,
    • Companies
    • Finance
    • Products
    • RealEstate
    • Technology
  • Entertainment
    • Lifestyle
  • People
    • Showbiz
      • Salon Mag
  • Special Report
    • Education
    • Voices
  • Reviews
    • Products
    • Events
    • Hotels
    • Restaurants
    • Places
  • WD-TV
  • Donate
  • China News

© 2025 Watchdog Uganda