EGGWANGA enkya y’olwokubiri libuutikiddwa amawulire ag’entiisa agakwata ku kufa kwa munnamaggye omwatiikirivu Maj. Gen. Wasswa Kasirye Ggwanga.
Gen. Ggwanga abadde amaze akaseera ka wiiki bbiri mu ddwaliro e Nakasero nga ajjanjabibwa obulwadde obwasibuka ku mawuggwe ne bumuretera okuba nti abadde tassa bulungi, era nga ennaku zino abadde yatekebwa ku byuma okumuyambako okussa.
Okusinziira ku mukwano gwe munnamawulire Steven Dunstan Busuulwa ategezezza nti olunaku lwa mande ddereva wa Kasirye yamukubidde essimu nga amutegeeza nga omulwadde bwamwetaaga, nti kyokka yagenze okumutuukako nga amaanyi gamuwedde okutuusa olwaleero ku makya bwe bamutegezezza nti afudde.
Omulambo gukyali mu ddwaliro e Nakasero.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com