MINISITA we byenjigiriza ebisokerwako Rose Mary Nansubuga Seninde akangudde ku ddoboozi eri abakulira amassomero okuli ag’obwannanyini saako n’agaGavumenti abefunyiridde okwongeza ebisale buli kaseera, nagamba nti kuluno tebagenda kubagumikiriza, nga Gavumenti bateekwa okubaako kye bakolawo okulaba nga bazadde tebanyigirizibwa.
Seninde agambye nti mu mbeera eno bakizudde nti abayizi n’abazadde banyigirizibwa nnyo olw’okukyusakyusa mu bisale, kyagambye nti kisusse era nga buli olukya bafuna okwemulugunya okwenjawulo.
Okwogera bino abadde aggulawo olukiiko olugendereddwamu okusunsula abayizi abagenda okwegatta ku siniya esooka mu massomero agenjawulo.
“Tetugenda kukkiriza bakulu ba massomero saako ne bannanyini go okwongeza ebisale, kubanga obuyinza nga Minisitule tubulina era tujja kuyingirawo wekyetagisirizza tusobole okutaasa embeera.
Tubakubiriza okufaayo okulumirirwa abazadde n’abayizi, kubanga buli muntu yandiyagadde okuwerera omwana we mu ssomero eddungi, naye olwe bisale ebisusse bambi olumu balemererwa” Seninde bwe yategezezza.
Amassomero okuli Buddo, Namiryango, Namagunga, St. Henry’s Kitovu namalala gagenda kutwala abayizi abaafuna obubonero wakati 4-6 okusobola okwegatta ku siniya essoka
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com