OMUBAKA Peter Sematimba akiikirira amaserengeta ga Busiro saako abayimbi okuli Geofrey Lutaaya saako ne Mukyala we Ireen Namatovu batuyana zikala, olwe bigezo bya siniya ey’omukaaga bye batudde okutandika ku lwokubiri.
Kitegerekese nti bano ebigezo babituulidde mu ssomero elimu mu Disitulikiti ye Luwero, era nga Sematimba agamba nti abadde akooye okumubuuza ebbaluwa kwe yasomera ekibiina ky’omukaaga kyagamba nti abasinga wano mu Uganda kye bategeera.
Agamba nti ddala kituufu yasoma era empapula azilina ezimusobozesa okuvuganya mu kifo kyonna mu ggwanga kubanga yasoma Diploma mu byamasanyalaze ne Compyuta mu Ggwanga lya America nga yasomera mu ttendekero lya Pacific Coast Technical Institute era namabaluwa nagafuna, nti kyokka bannaUganda babadde ssi bamativu na nsonga eno yadde nga ekitongole ekivunanyizibwa ku matendekero agawaggulu mu Ggwanga kyekeneenya empapula ze ne bazuula nga zituukana ne siniya ey’omukaaga eyetaagibwa.
“Nasazeewo byonna mbimalirize kubanga nkooye abantu abagenda mu kkooti nga maze okubawangula” Sematimba bwe yategezezza.
Mu mwaka gwa 2016 gwe baavuganya naye ku kifo kyo bubaka mu Palimenti Steven Sekigozi yali yatwala Sematimba mu kkooti nga agamba nti teyasoma kutuuka mu siniya ey’omukaaga nga bwe kilambikibwa mu Semateeka we Ggwanga ku buyigirize eri omuntuayagala okubeera omubaka, era omulamuzi wa kkooti enkulu Lydia Mugambe nasalawo nti kituufu ebiwandiiko bya Sematimba byali tebiwera.
Oluvanyuma kkooti ejulirwamu yamenyawo ebyasalibwawo kkoti enkulu, era nesala nti Sematimba ebiwandiiko abilina era mu kifo alimu mu butuufu.
Ye Omuyimbi Geofrey Lutaaya ne Mukyalawe Ireen Namatovu nabo kitegerekese nti bali mu kibuuzo oluvanyuma lwa Lutaaya okutuula siniya ey’okuna omwaka oguwedde, Mukyalawe Namatovu abadde azze asuubiza abantu nti bagenda kutuula bonna n’omwami we okusobola okufuan obuyigirize obumala.
Lutaaya agenda kwesimbawo okukiikirira ekitundu kye Kakuuto gyazaalibwa era nga nakalulu yatandika dda okukanoonya.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com