• Contact Us
  • About Us
  • Advertise
  • Donate
  • Login
Watchdog Uganda
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
    • Media Outreach Newswire
    • Africa News
    • Tourism
    • Community News
    • Luganda
    • Sports
      • Football
      • Motorsport
  • Op-Ed
    • #Out2Lunch
    • Conversations with
    • Politics
    • Relationships
  • Business
    • Agriculture
    • CEOs & Entrepreneurs,
    • Companies
    • Finance
    • Products
    • RealEstate
    • Technology
  • Entertainment
    • Lifestyle
  • People
    • Showbiz
      • Salon Mag
  • Special Report
    • Education
    • Voices
  • Reviews
    • Products
    • Events
    • Hotels
    • Restaurants
    • Places
  • WD-TV
  • Donate
  • China News
No Result
View All Result
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
    • Media Outreach Newswire
    • Africa News
    • Tourism
    • Community News
    • Luganda
    • Sports
      • Football
      • Motorsport
  • Op-Ed
    • #Out2Lunch
    • Conversations with
    • Politics
    • Relationships
  • Business
    • Agriculture
    • CEOs & Entrepreneurs,
    • Companies
    • Finance
    • Products
    • RealEstate
    • Technology
  • Entertainment
    • Lifestyle
  • People
    • Showbiz
      • Salon Mag
  • Special Report
    • Education
    • Voices
  • Reviews
    • Products
    • Events
    • Hotels
    • Restaurants
    • Places
  • WD-TV
  • Donate
  • China News
No Result
View All Result
Watchdog Uganda
No Result
View All Result

Kituufu ekitongole kya Cbs tekifaayo ku bakozi baabwe abalwalidde ku mirimu???

Kizito Moses Buule by Kizito Moses Buule
7 years ago
in Luganda, National, News
30 1
ShareTweetSendShare

ABANTU ab’enjawulo olunaku lw’okuna wiiki eno baatandise okwebuuza ebibuuzo eby’enjawulo saako n’okwemulugunya ku mikutu gy’amawulire ne ku mitimbagano nga bagamba nti embeera abakozi b’ekitongole ky’obwaKabaka ekya cbs  Leediyo gye bayitamu nga balwadde yenyamiza nti era batuuka kufa nga tebafiiridwako yadde nga baba bakozi balungi okuzaama.

Kino kyeyolekedde ku munnamawulire abadde awereza eby’emizannyo Yusufu Baliruno, abangi gwe bakazaako “OF UGANDA” okukunulwa mu nnyumba ye nga olumbe lwa kkansa lumulumye okumumalawo naye nga tafiiriddwako kitongole kyakolera ekya Cbs gy’amaze ebbanga lya myaka egisukka mu 12 nga awereza obw’aKabaka.

Baliruno amaze ebbanga nga mulwadde era nga afuna obujjanjabi obw’enjawulo ku nsimbi ze, okutuusa bwe yalemererwa kubanga ensimbi ezijjanjaba obulwadde bwa kkansa ziba mpitirivu naddala okugula eddagala ery’ebbeeyi mu Ggwanga Uganda.

Okusinziira ku omu ku b’oluganda lwa Baliruno atayagadde kumwatuukiriza mannya yagambye nti bafubye ekisoboka okulanba nga bajjanjaba muganda waabwe naye nga eddagala lya beeyi e Mulago ate nga mukiseera kino abadde takyakola.

Yagasseeko nti bagezezaako okutegeeza bakama be e Mengo gy’akolera nti kyokka tebalina ky’amaanyi kye babayambyeko okujjako bakozi banne ssekinoomu, amulumirirwa yamuwaayo akasente agule obutunda.

Olunaku lw’okuna omuzira kisa eyategedde ku mbeera Baliruno gye yabaddemu ye yagenze namutwalako mu ddwaliro e Kiruddu afune ku bujjanjabi kyokka olw’obufunda bwe nsawo gye yasobodde okumutwala so ssi mulago mu kitongole kya kkansa.

Abagenzi Mark Augustines Makumbi, Mukiibi Serunjogi ne Ronald Sembuusi

Wano abantu abenjawulo we batandikidde okwebuuza nti lwaki abakulira ekitongole kya Cbs tebafaayo ku bakozi baabwe balwalidde ku mirimu???, kinajjukirwa nti ssi Baliruno yekka yatafiiriddwako wabula n’omugenzi Mark Augustines Makumbi eyali awereza pulogulaamu z’ebyemizannyo naye yalwala era yatuuka kufa nga tewali kitongole kya Cbs kye kimuddukiridde mu bulwadde okujjako mikwano gye ne bakozi banne, era abakulira Cbs kye baakola kwe kugula Ssanduuke gye baamuziikamu nga afudde.

Omugenzi Sserunjogi Mukiibi ono yali asoma mawulire saako n’okugasunsula yalwala okumala ebbanga era nabeera mu nnyumba nga mulwadde naye nga teyafiibwako kitongole gye yali akolera, era bannamawulire abamanya ku bulwadde bwe be bagenda okumulabako ne basanga nga ali bubi era ne basonda sente ez’okumutwala mu ddwaliro, eky’ewunyisa abaakulira okusondera munnamawulire ono baali b’akitongole ate kya Vision Group sso ssi ekya Cbs kye yali akolera.

Bwe yawonamu yaddayo akkakalabye emirimu gye egy’okusoma amawulire kyokka kigambibwa nti olumbe lw’addamu ne lumubaka oluvanyuama lw’okusoma amawulire g’oluganda ku ssaawa 7 ez’emisana,  bwatyo yasalawo okugenda okuwummulamu munda mu kizimbe kati ekiyitibwa Masengere mu kiseera ekyo kyali tekinaggwa eyo gye yayassiza ogw’enkomerero.

Ekyewunyisa abaaliwo ye ngeri omulambo gwa Serunjogi gye gwaggibwa ku Bulange, kubanga buli muntu ne bakozi banne baali balowooza nti ekitongole kya Cbs kyalina obusobozi obuleeta Ambulensi wabula baasalawo kuleeta Kabangali ya Poliisi mwe bagukasuka okugutwala mu ddwaliro ekkulu e Mulago.

Ronald Sembuusi ono yali musasi wa mawulire mu kitongole kino okuva mu bizinga bye Kalangala, era yali muvubuka muto ku myaka 26 gyokka ono mwaka gwa 2013 yawawabirwa omusango gw’okulebula eyali Ssentebe wa Disitulikiti ye Kalangala Daniel Kikoola olw’amawulire ge yali ayisizza ku mpewo za Cbs, era omusango gwatwala ekiseera kinene nga guwulirwa ekyamutataaganya ennyo nga yewuuba mu kkooti e Kampala ne nsimbi ne zituuka okumuggwakonaye nga abakulira Cbs teri yafaayo ku muyambako yadde okumuwa ba Puliida.

Ono oluvanyuma omusango gw’amusinga era kigambibwa nti olw’ebirowoozo ebingi Sembuusi yafuna obulwadde nagenda ne yekweka mu bitundu bye Njeru ku lwe Jinja bannamawulire banne gye bamukukunula nga aweddeyo ne bamutwala mu ddwaliro gye yafiira.

 

 

 


Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com
Share6Tweet4SendShare

Related Posts

News

President Museveni presents NRM manifesto to Kabale as he drums up support ahead of 2026 elections 

25th November 2025 at 21:47
News

President Museveni urges Ugandans to judge NRM by its visible contributions as he rallies support in Rukiga 

25th November 2025 at 21:11
Hajji Kakande in a group photo with Policy Analysts
National

Hajji Kakande underscores critical role of policy analysts, urges them to develop cadreship

25th November 2025 at 20:35
Next Post

Meet a Ugandan entrepreneur minting millions from creating and selling businesses

  • Prostitution in Uganda- Courtesy Photo

    10 dangerous hotspots known for prostitutes in Kampala

    1346 shares
    Share 538 Tweet 337
  • Uganda’s Billionaires 2025: Once Again Sudhir Ruparelia Leads a Resilient Pack

    153 shares
    Share 61 Tweet 38
  • NAGRC’s Super Goat Breed Poised to Transform Uganda into a Major Exporter

    3232 shares
    Share 1293 Tweet 808
  • LIST: New salary structure for civil servants starting July 2020 out; scientists, lecturers get juicy pay rise

    2363 shares
    Share 945 Tweet 591
  • Col. Samson Mande: Why I fled Uganda and how I reconciled with Museveni

    45 shares
    Share 18 Tweet 11
Facebook Twitter

Contact Information

Watchdog Uganda is a portal for solution journalism, trending news plus cutting edge commentaries in the fields of politics, security, business, tourism, entertainment, technology, agriculture, climate change, environment, public health et al. We also give preference to Ugandan community news and topical discussions. The portal also publishes community news and topical discussions.

Email: editorial@watchdoguganda.com
To Advertise:Click here

Latest News

President Museveni presents NRM manifesto to Kabale as he drums up support ahead of 2026 elections 

25th November 2025 at 21:47

President Museveni urges Ugandans to judge NRM by its visible contributions as he rallies support in Rukiga 

25th November 2025 at 21:11

Check out

  • Trending
  • Comments
  • Latest

NAGRC’s Super Goat Breed Poised to Transform Uganda into a Major Exporter

17th September 2025 at 08:52
Minister Muruli Mukasa

LIST: New salary structure for civil servants starting July 2020 out; scientists, lecturers get juicy pay rise

24th May 2020 at 10:45
Sudhir Ruparelia is the undisputed king of Kampala

Billionaire Sudhir’s wisdom on how to invest in real estate

0

How a boy’s destiny turned from cotton grower to communications guru

0

President Museveni presents NRM manifesto to Kabale as he drums up support ahead of 2026 elections 

25th November 2025 at 21:47

President Museveni urges Ugandans to judge NRM by its visible contributions as he rallies support in Rukiga 

25th November 2025 at 21:11

© 2025 Watchdog Uganda

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In
No Result
View All Result
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
    • Media Outreach Newswire
    • Africa News
    • Tourism
    • Community News
    • Luganda
    • Sports
      • Football
      • Motorsport
  • Op-Ed
    • #Out2Lunch
    • Conversations with
    • Politics
    • Relationships
  • Business
    • Agriculture
    • CEOs & Entrepreneurs,
    • Companies
    • Finance
    • Products
    • RealEstate
    • Technology
  • Entertainment
    • Lifestyle
  • People
    • Showbiz
      • Salon Mag
  • Special Report
    • Education
    • Voices
  • Reviews
    • Products
    • Events
    • Hotels
    • Restaurants
    • Places
  • WD-TV
  • Donate
  • China News

© 2025 Watchdog Uganda