• Contact Us
  • About Us
  • Advertise
  • Donate
  • Login
Watchdog Uganda
Advertisement
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
    • Sports
      • Football
      • Motorsport
  • Business
    • Agriculture
    • Finance
    • RealEstate
    • Technology
  • Op-Ed
  • Entertainment
    • Lifestyle
    • Showbiz
  • People
    • Entrepreneurs
    • Stars
    • Politicians
  • Special Report
    • Education
  • Travel
  • Video
  • Luganda
No Result
View All Result
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
    • Sports
      • Football
      • Motorsport
  • Business
    • Agriculture
    • Finance
    • RealEstate
    • Technology
  • Op-Ed
  • Entertainment
    • Lifestyle
    • Showbiz
  • People
    • Entrepreneurs
    • Stars
    • Politicians
  • Special Report
    • Education
  • Travel
  • Video
  • Luganda
No Result
View All Result
Watchdog Uganda
No Result
View All Result

Abaali bawawabira Kitatta nabo battukizza emisango egisoba mu 40 nagyo gimuvunanibwe

Kizito Moses Buule by Kizito Moses Buule
2 years ago
in Luganda, National, News
14 0
Abaali bawawabira Kitatta nabo battukizza emisango egisoba mu 40 nagyo gimuvunanibwe

Kitatta mu ssaati eya kyenvu bwe yali aletebwa mu kkooti y'amaggye gye buvuddeko

ShareTweetSendShare

ABANTU abaali bawaaba emisango gyabwe nga balumiriza eyali omuyima wa kabinja ka Boda Boda 2010 ne banne nabo basazeewo okuttukiza emisango gino nagyo agiwoze era awebwe ebibonerezo, kubanga yabakosa saako n’okubatulugunya ekisukiridde.

Bano bagamba nti Kitatta n’akabinja ka Boda Boda 2010 baabatulugunya era fayiro 48 weeziri zonna nga baagala avunaanibwe emisango egyo gumu ku gumu ng’ali wamu ne banne be yali akola nabo mu kabinja ako akaawagirwanga ennyo poliisi ku mulembe gwa Gen. Kale Kayihura.

Bonna be baakolako effujjo nga Kitatta ye muyima wa Bodaboda 2010 omuli abaakubwa n’abaatwalibwako pikipiki zaabwe baalaze obutali bumativu ku kibonerezo nga bagamba nti kitono nnyo bw’ogeraageranya ebikolobero ebyakolebwako.

Egisinga ku misango gino gya kukuba n’okutuusa ebisago ku bantu, okutwala pikipiki z’abantu mu ngeri emenya amateeka, okubasibira mu buduukulu obutali mu mateeka, okutuusa obulemu ku bantu n’emirala.

Abasinga ku baggulawo emisango gino baali mu bibiina ebyali bivuganya ne Bodaboda 2010 ekya Kitatta, kw’ossa n’abo abaakwatibwanga nga bavuga bodaboda naye nga tebalina kaadi ya Boda Boda 2010.

John Semuju ssentebe w’ekibiina kya Kampala Metropolitan Bodaboda Entrepreneurs (KAMBE) akigenda okuvunaana Kitatta ne banne annyonyola; Ekisooka ndi omu ku baakubwa obubi ennyo era nasigaza enkovu ku nkoona gye ntunulako buli kiseera ne nzijukiza effujjo lya Kitatta ne banne.

Gwali mwaka gwa 2017 nnali ndi ku ofiisi ya KAMBE e Makindye okuliraana poliisi ku makya ng’enda okulaba ekibinja ky’abavubuka abakutte payipu n’ejjambiya nga basalako ofiisi.

Bwe baatuuka bajja banoonya nze kubanga nnawulira nga boogera erinnya lyange naye baali tebammanyi.

Omu bwe yandaba eyali ammanyi kye yava agamba nti “y’oyo’ kwe kusalawo nziruke. Nnali mpeta ensonda ya ofiisi ne mpulira ekinkuba ku nkoona, saamanya oba yali jjambiya oba katayimba naye nnawunga buwunzi.

Ekyannyamba nnali ntuuse ku mulyango gw’ennyumba ya Landiroodi ne ngyesogga era amangu ago abaali mu nju munda ne bagiggala; kwe kuwona. Oluvannyuma natwalibwa mu ddwaaliro.

Bano olwamala okunkuba baayonoona buli kye baasanga ku ofiisi omwali kompyuta ze baakubaakuba, fayiro ne baziggyayo nga bwe bakasuka ebweru, omuwala gwe nnali naye mu ofiisi ayitibwa Noeline Mukisa n’omuvubuka Muhamood Mayanja nabo baabakuba ne baboogoloza olwamala ne bagenda.

Wadde poliisi eri kumpi awo e Kibuye, kyagitwalira eddakiika ezisoba mu 30 okujja wadde twali tugitegezezzaako.” Semujju bwe yategezezza.

Yagambye nti oluvanyuma lwa kkooti ya Maggye okusalira Kitatta emyaka 8 nabo basazeewo beekungaanye batwale okwemulugunya kwabwe mu kkooti ensonga zaabwe zitunulwemu kubanga bakyalina obuvune obwabatuusibwako akabinja ka Boda Boda 2010 nga emisango gyonna baagala kitatta agiwoze naggyo.

 


Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com

For marriage, family, love, job/promotion. Goodluck in your business/lottery, court cases, diseases and other Spells kindly call Kiwanga Doctors on +254 769404965 or CLICK HERE

Share3Tweet2SendShare
Previous Post

I don’t hate men – Sheebah Karungi

Next Post

Tukuletedde omusajja Abudallah Kitatta eyagenda okwetikka obuwunga nawasa maneja w’ekyuma

Next Post
Tukuletedde omusajja Abudallah Kitatta eyagenda okwetikka obuwunga nawasa maneja w’ekyuma

Tukuletedde omusajja Abudallah Kitatta eyagenda okwetikka obuwunga nawasa maneja w'ekyuma

Subscribe to Our Newsletter

Our news in your inbox. Subscribe to receive Watchdog Uganda news in your email at no cost.

Check your inbox or spam folder to confirm your subscription.

Facebook Twitter

Contact Information

Plot 23, Yusuf Lule Road
PO Box 7661 Kampala, Uganda
Office Line: +256 777 286 815
Email: editorial@watchdoguganda.com
To Advertise:Click here

© 2020 Watchdog Uganda

No Result
View All Result
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
    • Sports
      • Football
      • Motorsport
  • Business
    • Agriculture
    • Finance
    • RealEstate
    • Technology
  • Op-Ed
  • Entertainment
    • Lifestyle
    • Showbiz
  • People
    • Entrepreneurs
    • Stars
    • Politicians
  • Special Report
    • Education
  • Travel
  • Video
  • Luganda

© 2020 Watchdog Uganda

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Create New Account!

Fill the forms below to register

All fields are required. Log In

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In