Bya Musasi Waffe.
OMUSOLO ogwali gw’atekebwa ku nkola ey’okufuna n’okuwereza sente nga ziyita mu mayengo g’omubbanga kyadaaki gukendezeddwa.
Mu lutuula lwa Palimenti eggulo lya leero nga lubadde lukubirizibwa Amyuka omukubiriza Jacob Oulanya ababaka 136 bakkanyizza ne Pulezidenti omusolo guno gukendezebwe okudda ku butundu tundu 5 nga bwe yali asoose okubategeeza wabula ne basooka obutakkanya nakyo.
Wabula Ababaka baguddewo ekigwo ate banaabwe 101 bwe bategezezza nti babadde bagala ekitundu 1 nga bwe baali bakiyisizza omusolo guno gusigalewo.
Era wano abamu ababadde bagala gukendezebwe bawulikise nga bagerera waggulu nga beewunya ekibadde kituuse ku banaabwe.
Omubaka we Ssaza lye Manjiya John Baptist Nambeshe wamu n’oweNakaseke Luttamaguzi Ssemakula babadde basoose ne basaba Sipiika omusolo guno guggibwewo, wabula nabategeeza nti babadde bakutandikira we bakoma ku lw’okutaano lw’awiiki ewedde nga balonda okusalawo ku by’okugukendeeza okudda ku butundu tundu 5.
Oluvanyuma kitegerekese nti Ababaka 136 ku abo 237 ababaddewo leero basinzizza amaanyi era etteeka ne liyitamu nga kati ligenda kuddayo ew’omukulembeze we Ggwanga addemu atekeko omukono.
Kinajjukirwa nti olw’okutaano oluwedde Ababaka abekibiina ekiri mu buyinza bafuluma omu ku omu wakati mu kw’ebuzabuza nga kigambibwa nti baali tebagala musolo guno gukendezebwe, wabula ku mmande Pulezidenti Museveni yabayita mu maka g’obwaPulezidenti Entebbe n’abakkirizisa kye yali abagambye mu kusooka.
Kati kitegeeza nti amakampuni g’ebyempuliziganya galina okuddiza ensimbi abantu baabwe abaggibwako ensimbi ku kitundu ekimu,
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com