• Contact Us
  • About Us
  • Advertise
  • Donate
Saturday, August 13, 2022
  • Login
Watchdog Uganda
Advertisement
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
    • Africa News
    • Community News
    • Luganda
    • Sports
      • Football
      • Motorsport
  • Op-Ed
    • #Out2Lunch
    • Conversations with
    • Politics
    • Relationships
  • Business
    • Agriculture
    • CEOs & Entrepreneurs,
    • Companies
    • Finance
    • Products
    • RealEstate
    • Technology
    • Travel
  • Entertainment
    • Lifestyle
    • Showbiz
  • Salon Mag
  • Special Report
    • Education
    • People
    • Voices
  • Reviews
    • Products
    • Events
    • Hotels
    • Restaurants
    • Places
  • Video
  • Donate
No Result
View All Result
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
    • Africa News
    • Community News
    • Luganda
    • Sports
      • Football
      • Motorsport
  • Op-Ed
    • #Out2Lunch
    • Conversations with
    • Politics
    • Relationships
  • Business
    • Agriculture
    • CEOs & Entrepreneurs,
    • Companies
    • Finance
    • Products
    • RealEstate
    • Technology
    • Travel
  • Entertainment
    • Lifestyle
    • Showbiz
  • Salon Mag
  • Special Report
    • Education
    • People
    • Voices
  • Reviews
    • Products
    • Events
    • Hotels
    • Restaurants
    • Places
  • Video
  • Donate
No Result
View All Result
Watchdog Uganda
No Result
View All Result

Mukomye okusanyawo obutonde bwe Nsi ku lwe Binazi, Minisita wa Kabaka Sekabembe

Kizito Moses Buule by Kizito Moses Buule
13th March 2022 at 12:44
in Luganda, Sports
14 0
0
Mukomye okusanyawo obutonde bwe Nsi ku lwe Binazi, Minisita wa Kabaka Sekabembe

Omubaka omukyala owe Kalangala Helen Nakimuli nga afukamidde mu maaso ga Minista Sekabembe Wakati ye yaliko Kweba Rev. Father Walusimbi

7
SHARES
357
VIEWS
ShareTweetSendShare

Minisita  ow’ebyemizanyo, abavubuka n’okwewumuza mu Bwakabaka bwa Buganda owek. Henry Moses Ssekabembe Kiberu akalaatidde abaSsese okuddamu okufaayo okukuuma obutonde bw’ensi nga omu ku kaweefube anayamba emiti emito mu Buganda okugenda mu maaso.

Oweekitiibwa Ssekabembe okwogera bino yabadde antindizze olugendo ku lyaato okutuuka ku Kizinga Bukasa gye yatongolezza empaka z’emipiira gy’amagombolola mu bwa Kabaka n’alaba ebizinga ebyaali bijjudde ebibira nga kati byaasaayibwa dda, olwo ebimu ne kusimbibwako ebinazi.

Okuva ku kizinga Buggala ewali ekitebe ky’essaza Ssese okuyita ku bizinga okuli Bunyama, Bubembe ne Bugaba, abantu baalimako ebinazi nga kati ebibira ebyaaliko byonna byasaayibwa ky’agamba nti kyonoonye obutonde bw’ensi.

Owek.  Ssekabembe eyatuukidde e Bukasa gye yatongoleza emipiira gy’amagombolola, nga bamulopedde nti n’ekizinga Bukasa okujjudde obuwangwa n’ebiggwa ebikulu nga e Kitinda ewa Wanema, abantu baagala okusaanyaawo ebibira basimbe ebinazi kye yagambye nti kino kyabulabe nnyo.

Ebinaazi byatandika okulimwa ku bizinga e Ssese mu 2005 nga kati abantu abasuka mu 1500 nga ogyeeko Kampuni eya Oil Palm Uganda Limited bebeetaba mu kulima ebinazi bino ku ttaka eliweza hectares 12,000.

Oluvanyuma  Ssekabembe yatongoza emipiira gy’amagombolola ku Kisaawe Kiziba tiimu ye gombolola Musaale ne Ssabagabo gye bakulembeddemu okuggulawo empaka zino.

Omupiira wakati Ssabagabo Bukasa ne Musaale Bubeke gwawedde maliri nga buli ludda lwateebye egoolo emu ku emu.

Omwami wa Kabaka atwala e Ssaza lye Ssese, Kweba Augustine Kasirye yanyonyodde ekigendelerwa ky’emipiira gy’amagombolola gino kwe kugatta abantu ba Kabaka saako n’okwewummuza.

Bbo ababaka abakiikilira essaza lye Ssese okuli Helen Nakimuli omukyaala owe Kalangala ne Moses Kabuusu atwaala essaza lye kyamuswa beeyanzizza Ssabasajja Kabaka okuteekawo empaka zino ate ne zitandikira ku kizinga Bukasa, e Ssese mu bantu baabwe.

Bano baategeezeza nga bwe bajja okukola ekisoboka okulaba nga bawagira eby’emizannyo mu bwa Kabaka bwa Buganda.

 


Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com

Tags: Henry Sekabembe kiberuHon. Helen NakimulikalangalaSsese
Previous Post

How Tycoon Ham plans to transform Kigo land into ultra-modern sports complex in the vicinity of Serena Kigo and Mirembe Villas

Next Post

Besigye’s son Anselm gets scholarship worth Shs140 million for Masters Degree at University of Chicago

Next Post
Besigye’s son Anselm gets scholarship worth Shs140 million for Masters Degree at University of Chicago

Besigye’s son Anselm gets scholarship worth Shs140 million for Masters Degree at University of Chicago

Contact Information

Watchdog Uganda is a portal for solution journalism, trending news plus cutting edge commentaries in the fields of politics, security, business, tourism, entertainment, technology, agriculture, climate change, environment, public health et al. We also give preference to Ugandan community news and topical discussions. The portal also publishes community news and topical discussions.

Plot 23, Yusuf Lule Road
PO Box 7661 Kampala, Uganda
Office Line: +256 777 286 815
Email: editorial@watchdoguganda.com
To Advertise:Click here

Follow Us on Twitter

Tweets by watchdogug

Follow Us on Facebook

  • About
  • Advertise
  • Donate
  • Contact

© 2021 Watchdog Uganda

No Result
View All Result
  • News
  • Business
  • Op-Ed
  • Entertainment
  • Travel
  • Special Report
  • Video
  • Luganda

© 2021 Watchdog Uganda

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In
Posting....