WASSWA Muhammed Takwana ye munna NRM akwatidde ekibiina Bendera mu Division ye Mukono, Ono era ye Ssentebe we Kyalo Gulu A ekisangibwa mu Division Ye Mukono mu Munisipaari yeemu.
Agamba nti amaliridde kuluno okusuuza Ssentebe aliko kati Jamil Kakembo ono amazeeko kati emyaka 10 be ddu.
Wasswa gwe twasanze ku kyalo kyakulembera ekya Gulu A atunyonyodde bwati olugendo lwe mu by’obukulembeze;
Nazaalibwa ku kyalo Bulele ekisangibwa mu Gombolola ye Najja mu Buikwe, era Kitange ye Mugenzi Sheik Amiisi Bazira Takwana nga ono bangi bamumanyira nnyo mu mirimu gye yakolanga nga ye yali atwala e Gombolola ya Ssabasajja Ssabawaali Buikwe okumala ebbanga ddeneko, ne mmange ye Hajjati Asia Namuyomba naye kati mugenzi.
Okusoma kwange Nakutandikira ku ssomero lya Lweru Pulayimale era ne mu siniya nali eyo mu ssomero lye limu, Yadde nga saagenda nnyo mu maaso ne by’okusoma nali muvubuka ayagala okwekolera sente zange kubanga kitaffe yali ayagala nnyo abaana be okukola.
Bwe nafunawo ku kasente neesogga ekibuga Mukono ne Ngula ne ttaka mu Kyalo kyenkulembera kati Gulu A, era mu mwaka gwa 1993-1997 nalondebwa okufuuka omumyuaka wa Sentebe we Kyalo kino.
Mu mwaka gwa 2001 aabatuuze bandabamu omulimu era ne bannonda okufuuka Ssentebe omujjuvu okutuusa kati.
Nkoze emirimu mingi nga omukulembeze nga nnyambako Gavumenti okutuusa enkola zaayo mu bantu ba wansi omuli okugemesa abaana Polio, era ekyo kyansanyusa nnyo okulaba nga abaana mu kitundu kyange bonna tekuli yalemala yadde nga waaliwo okusooka okusika omuguwa nabazadde.
Neetabye mu nkola endala nnyingi omuli ey’abantu baffe okufuna endaga muntu, Enkola eya bonna basome ngitaddemu nnyo amaanyi era nga abaana mu Mukono tebakyataayaya nnyo nga bwe kyalinga nga tebaagala kusoma.
Nakola ekyetaagisa okulaba nga tufuna Poliisi mu kitundu kyaffe yadde nga abakulembeze abaaliko baali bakisimbidde ekkuuli, naye nze ne nvaayo nga ndaba obumenyi bwa mateeka bususse.
Nkubirizza abatuuze bange okuzimba ennyuma eziri ku plan mu kitundu kyange nga nkwatagana n’abakulira okutekerateekera ekibuga, kye ndowooza nti sili mupya nnyo nja kusobola okukwatagana nabo nga mpereddwa omukisa okukulembera abantu baffe mu Mukono Central Division.
Nze Ssentebe w’olukiiko olukulembera essomero lyaffe elimanyiddwanga Mukono Town Moslim, nga guno omulimu ngukoze okuva mu mwaka gwa 1999 okutuusa kati.
Nze Muwandiisi w’olukiiko olukulembera omuzikiti gwaffe omunene mu Mukono, omulimu gwe nkoze mu bwesimbu okuva mu mwaka gwa 2012.
Nze omu ku baatandikawo Lufula mu katale akanene akamanyiddwanga Kame valley Market, nga obuvumu nabujja mu bannaffe ab’eKampala City Abatour gye nali omu kubagikulira.
Ku lukiiko olukulembera ba Ssentebe ba LC mu Munisipaari yaoona ye nze ssabawandiisi wabwe, era nga neebaza Katonda nti nsobodde okusikiriza abantu okuleeta enkulakulana ku kitundu kyange omuli ne Ttendekero lya basawa elimanyiddwanga St Elizabeth.
Okusinziira ku nsonga ezo wammanga abantu ba NRM kyeva bantekamu obwesige ne bannonda okubakwatira Bendera omulinu naange gwendiko kwe kulaba nga ekifo ky’obwaSsentebe tukiwangula.
Wasswa Muhammed Musajja mufumbo era alina abaana n’abazzukulu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com