Omukulembeze we kisinde kya National Economic Empowerment Dialogue (NEED) Joseph Kabuleta asabye bannaUganda okwewala okwogerera mu mawanga bwe baba nga baagala okwekulakulanya.
Bwe yabadde ayogerako n’abatuuze b’omukibuga kye Masaka ne Ankole Kabuleta agambye nti okwesosola mu mawanga saako ne by’obufuzi ebyawulayawula mu bantu bye bimu ku bivuddeko obwavu obuluma bannaUganda.
Yagambye nti kino kye kivuddeko Pulezidenti Museveni okufuga ennyo kubanga abantu ab’eyawudde yawudde bangu baakufuga kubanga baba tebassa kimu.
“Kye tulina okukola kili kimu kwe kwekungaanya awamu tulabe butya bwe tusobola okugonjoola ebizibu nga ffe, kubanga tuli be bamu.
Olwaleero abantu bawano e Buddu bamaze okukitegeera nti ebizibu bye balina n’abanyankole bye balina era olukungaana olunaddako ngenda kukwata ku butya bwe tuyinza okwegatta ffenna nga bannaUganda buli muntu awulirize munne ne bimuluma, okugeza nga ow’omuBuganda awulize owe Karamoja, Arua, Busoga nawalala basobole okujjayo ebibaluma awo we mujja okumanya nti ffena tuli ku Yoleke” Kabuleta bwe yagambye.
Yabajjukizza era nti balina okwegatta awamu basobole okulwanirira eby’obugagga byabwe ebisangibwa mu bitundu gye bawangalira, nagamba nti singa bakola kino obwavu bajja kubukonga lusu.
“Ensonga lwaki natandika ekisinde kino, kubanga nalaba nga kyetaagisa okubamanyisa nti omuntu ali emabega w’obutakulakulana bwammwe tabali wala kati atandise n’okutuuka ku mutendera gw’emiruka wansi eyo.
Naye nga ekimu ku bisinze okuleetawo embeera eno kwe kuba nti buli muntu tamanyi kifa wa munne ne kileetawo okulowooza nti abamu bali bulungi abalala bali bubi
Ne kilala nti olw’okuba abantu boogerera mu nnimi za njawulo, kiletawo era endowooza nti abamu balina ebizibu bingi nnyo kumbe mwenna enfuga embi n’obwavu bibatwalira wamu” Kabuleta bwe yagambye.
Abatuuze baamusindidde ebizibu ebibasuza nga tebebase okuli ekibba ttaka ekikyase mu Buganda ne Ankole, okusengula abantu ku buwaze nga tebaliyiririddwa, saako n’okujoogebwa abali mu buyinda nga beesiga amaanyi agava waggulu.
Atuhirwe Prossy, nga ono yavuganyako mu kifo ky’obubaka bwe kitundu kya Isingiro south kyokka natayitamu mu kulonda okuwedde yagambye nti, bannaUganda bajoogeddwa nga kye kiseera abantu okuvaayo berwaneko okusobola okufuna ebyabwe.
“Banange eno embeera mwe tuli tetulina kulwanirira bitundu byaffe gye tuva byokka, ssi bwakabaka bwaffe yadde ebyaffe nga abantu wabula tulina kulwana ku lwa bannaUganda bonna ekilungi eno Uganda twagisangawo, weeri era tujja kugilekawo, kyembasaba tukwatirewamu nga tetufuddeyo nti nze nga omuganda oba omunyankole wabula tukikole ku lwa Nyaffe Uganda eyawamu” Atuhirwe bwe yagambye
Ekisinde kya NEED ekyatongozebwa omwaka oguwedde kisobodde okwetoloola e Ggwanga lyonna era nga kati kibuutikidde ebitundu okuli Busoga, Buganda, Bugisu, Bukedi, Teso, Sebei, Lango, Acholi, West Nile,Tooro, Rwenzori, Kigezi ne Ankole
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com