ABAYIZI bonna mu Settendekero e Kyambogo bawereddwa obutaddamu kutambuliza bitabo mu nsawo, bano balagiddwa ebitabo babikwate mu ngalo olw’okwewala obutujju obukyayinza okubalukawo.
Ensawo zonna tezigenda kukkirizibwa mu bibiina okujjako abasomesa bokka era nga zigendanga kwekebejjebwa nnyo okulaba nga tezileeta buzibu bwonna.
Akulira eby’amawulire e Kyambogo Raymond Twinomujuni agambye nti kino bakikoze ku lwobulungi bwa bayizi be Kyambogo okusobola okwewala obutujju bwa bbomu obuyinza okubalukawo.
Agambye nti n’abayizi bonna balina okuba nga bambega ku banaabwe saako n’okuloopa abo be batamanyi mu bisulo gye basula ne ku ssomero kiyambe okutangira obutujju.
Olunaku lwa Mande abayizi ba zi Yunivasite bonna baatandika okusoma kyokka nga waliwo okutya okuva mu b’ebyokwerinda olw’obutujju obwabalukawo mu Ggwanga.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com