ABAYIMBI okuli Yosefu Mayanja amanyiddwanga Dr. Jose Chameleon, Moses Ssali amanyiddwanga Bebe Cool ne banaabwe abalala bangi beewunyisizza ensi bwe bagenze ewa Gen. Salim Saleh ne bamusaba abawe ensimbi za Uganda obuwumbi 9 mu obukadde 400 beddaabulule mu mbeera gye bayiseemu nga bali mu muggalo.
Bano nga ennaku zino baagunjaawo ekibiina kye bayita The new Uganda Superstars Musicians Association bagamba nti okusaba ensimbi zino kibagwanira kubanga bakoseddwa nnyo omuggalo okuva ebivvulu byabwe lwe byaggalwawo olw’ekirwadde kya covid 19.
Omukulembeze waabwe nga ye Chameleon agamba nti ekibasabizza ensimbi zino kwe kugezaako okutaasa ekisaawe kyokuyimba mu ggwanga nti kubanga bangi ku bbo esuubi libaweddemu nga bwe batyo beetaaga okweddabulula mu byenfuna.
Abagenda okuganyulwa mu ntekateeka eno bawerera ddala 26, era nga bwe bati bwe baagala okutematema ekintu kyabwe Chameleone ayagala awebwe obukadde 800, Pallaso 821, David Lutalo 420, Bebe Cool 670, Winnie Nwagi 380, Azawi 250 nabalala ku lukalala wammanga.
Ekibiina kyabano kyatandikibwawo mu mwezi gw’omukaaga omwaka guno.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com