OBUNKENKE mu kibuga Kampala ne miriraano bw’olekedde okuggwawo oluvanyuma lw’okulayira kw’omukulembeze we Ggwanga okwabadde e Kololo olunaku lw’okusatu.
Abantu bangi babadde beemulugunya saako n’okutya olw’abakuuma ddembe ababadde bateevunya nga munyeera ku nguudo za Kamapla ne bitundu ebirinanyewo.
Amyuka omwogezi wa maggye ge Ggwanga Col. Deo Akiiki yagambye nti kati abakuuma ddembe abasing obungi bagenda kuddizibwayo mu bifo gye babadde babeera, kubanga omulimu gw’okukuuma emirembe ogubadde gwabaleeta gwawedde bulungi, era tewabaddewo busambattuko wonna mu Ggwanga.
“Emikolo gyawedde bulungi tetwafunyeyo yadde kintu kyonna kigitataaganya era tewali muntu yenna yakwatiddwa ku nsonga y’akutabangula mirembe, kale twagala okwebaza bannaUganda ne bitongole ebikuumaddembe byonna olw’emirembe egy’abaddewo mu kulayira kw’omukulembeze we Ggwanga” Akiiki bwe yagambye.
Ye amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala ne miriraano Luke Owoyesigyire yagambye nti nga ojjeko abantu abakwatibwa mu kiro ekyakeesa olw’okusatu nga bamenye amateeka ga kafiyu, tewali muntu yenna Poliisi gwe yakutte ku lunaku lw’okulayira.
Yagambye nti waliwo Boda boda ze baaboye mu kiro ezikuumirwa ku poliisi ez’enjawulo, nasaba bannanyini zo okujja ne bizoogerako basasuleyo engassi zibaddizibwe.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com