ABABAKA abatuula ku kakiiko akalondoola enkola ye mirimu mu bitongole bya Ggavumenti COSASE bayisizza ekiwandiiko ki bakuntumye eri abakulira akakiiko ke bye ttaka mu kibuga Kampala, oluvanyuma lwa bakulu bano okwelema okujja babeeko bye babuuzibwa mu Palimenti.
Amyuka akulira akakiiko kano Ibrahim Kasozi agambye nti basazeewo okukola kino kubanga bamaze ebbanga ddene nga bayita abakungu bano nga bebezabuza ate nga tewali nsonga nnungamu gye bawa.
Kino kiddiridde ababaka abatuula ku kaiiko ka COSASE okumala akaseera nga kanonyereza ku ngaba ye ttaka mu Kampala eyalimu amancoolo nga kwotadde ne bimu ku by’obugagga bya Bayindi ebyawebwayo akakiiko kakno nga tekagoberedde mateeka.
“Abakungu bano tetumanyi kye beesiga kubanga buli muntu akwatibwako tumuyise wano najja mu kakiiko era ne babuuzibwa, naye bano balabika waliwo ekibesiguza kye tutamanyi” Kasozi bwagambye.
Tumaze okutegeeza Poliisi n’abebitongole by’okwerinda ebilala abantu bano bakwatibwe okusooka okuyisa olugaayu mu kakiiko ate baletebwe babuuzibwe.
“Omulimu gw’okunoonyereza gubadde gugenze bulungi era nga tunatera okumaliriza naye kilabika bano baagala kutuzza mabega naye engeri gye bali nti tebali waggulu wa mateeka, katuyite mu mateeka ge nnyini tubakwateko” Kasozi bwayongeddeko.
Nga ojjeko eby’obugagga bya bayindi naye era waliwo n’amattaka mangi mu Kampala agatundiddwa awatali kugoberera mateeka.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com