EGGWANGA liguddemu ekyekango oluvanyuma lw’okufuna amawulire g’okufa kwa munnamaggye era eyavuganyako ku bwa Pulezidenti Major General Benon Biraro.
Ono Afiiridde mu ddwaliro lya Kampala Hosipital gyabadde nga ajjanjabibwa ekilwadde kya kkansa.
Biraro abadde aludde okuwulikika okuva lwe yeetaba mu kuvuganya ku bwa Pulezidenti mu mwaka gwa 2016.
Yoomu ku bajaasi abaawumuzibwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni mu mwaka gwa 2014, era nga emirimu gye yagikolera nnyo mu kitundu kye Karamoja naddala mu kiseera Gavumenti bwe yali mu kawefube w’okujja ku ba Karamoja emmundu.
Ebisingawo ku mboozi eno bijja mubilinde…………………………………
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com