• Contact Us
  • About Us
  • Advertise
  • Donate
  • Login
Watchdog Uganda
Advertisement
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
  • Business
    • Agriculture
    • Finance
    • RealEstate
    • Technology
  • Op-Ed
  • Entertainment
    • Lifestyle
    • Showbiz
  • Sports
    • Football
    • Motorsport
  • Special Report
    • Education
    • People
  • Travel
  • Video
  • Luganda
No Result
View All Result
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
  • Business
    • Agriculture
    • Finance
    • RealEstate
    • Technology
  • Op-Ed
  • Entertainment
    • Lifestyle
    • Showbiz
  • Sports
    • Football
    • Motorsport
  • Special Report
    • Education
    • People
  • Travel
  • Video
  • Luganda
No Result
View All Result
Watchdog Uganda
No Result
View All Result

Eby’obufuzi e Lwemiyaga: Munnabyanfuna John Patrick Kateeba afungizza okusuuza Sekikubo ekifo ky’obubaka mu Palimenti

Kizito Moses Buule by Kizito Moses Buule
12 months ago
in Luganda, National, News, Politics
26 0
Eby’obufuzi e Lwemiyaga: Munnabyanfuna John Patrick Kateeba afungizza okusuuza Sekikubo ekifo ky’obubaka mu Palimenti

John Patrick Kateeba ku kkono ayagala okusigukulula Sekikubo ku ddyo ku kifo ky'obubaka bwe Lwemiyaga mu Palimenti

Share on FacebookShare on Twitter

Eby’obufuzi mu Ssaza lye Lwemiyaga mu Disitulikiti ye Sembabule byeyongeddemu ebbugumu oluvanyuma lw’omwana enzaaalwa ate omuvubuka embula kalevu John Patrick Kateeba okuvaayo avuganye ku kifo ky’omubaka mu Palimenti akikirira ekitundu kino.

Ekifo mu kiseera kino kirimu munnaNRM Theodral Sekikubo, era nga akimazeemu emyaka egisoba mu 10, nga abamu ku batuuze bagamba nti ekiseera kituuse bafune ku muntu omulala abakiikirira.

Omukugu mu kubalirira ebitabo John Patrick Kateeba 33, yoomu ku bavuddeyo okuvuganya ekifo kino, era agamba nti mwetegefu okuttunka ne bonna abaagala ekifo kino kubanga agamba nti alina enkizo yamaanyi.

Hill Water

Ono gwe twasanze mu kitundu kye Lubaale e Lwemiyaga gyazaalibwa nga asisinkana abantu ab’enjawulo yategezezza Watchdog ebimukwatako wamanga;

Nazalibwa ku kyalo Lubaale mu mwaka gwa 1987, era bazadde bange ye mwami Patrick Kateeba ne maama Resty Kyomugisha  bonna nga batuuze be Lubaale mu Ssaza lye Lwemiyaga e Sembabule.

Natandika okusoma kwange mu ssomero lya Mayikalo, gye nava ne ngenda mu Lubaale Pulayimale eno gye namalira ekibiina kyange eky’omusanvu mu mwaka gwa 2001.

Ebibuuzo byagenda okudda nga nkoze bulungi nnyo yadde amassomero ge nasomeramu gaali ga kyalo, awo neegatta ku ssomero lya Kyeera Effective SS, Lwemiyaga SS, siniya yange ey’okuna ne ngituulira mu ssomero lya Comprehensive High School.

Nga bulijjo tewaali kizibu kyonna ebigezo byagenda okudda nga nze omu ku bayizi abaali bakoledde ddala obulungi mu mwaka ogwo, bazadde bange ne bantwala mu ssomero lya Mbarara Modern School gye nakolera siniya yange ey’omukaaga.

Wano nafuna ekifo mu Ttendekero lye Kyambogo mu Kampala ne nkola diguli yange esooka mu ssomo ly’okubalira ebitabo ne by’enfuna mu mwaka gwa 2011, natandika okukola emirimu gyange ne kkampuni emanyiddwanga BMR Associates.

Nakizuula nga nalina okweyongera okukuguka mu mulimu gw’okubala ebitabo era ne ngenda ku Ttendekero lya International Academy of Financial Management mu America, gye nafuukira omukugu mu kulambulula eby’enfuna.

Neegatta ku Ttendekero lya Uganda Christian University e Mukono, ne nsoma Diguli yange ey’okubiri mu kuyiikuula amafuta ne nkozesa yaago era mu kiseera ekyo nali omu ku bayizi 3 abaasinga ekyampa omukisa okweyongerayo okusoma PHD yange mu kukulembera n’okuddukanya emirimu gye kyakola nakati.

Emirimu Kateeba gyakozeeko

Natandika okukola ne kkampuni ya BMR Associates gye nava nga nfuuse omubalirizi we bitabo omukulu, ne nkolako ne kitongole kya KAT Associates, bwe navaayo ne nfuulibwa akulira kkampuni ya babalirizi be bitabo eya Markhouse.

Olw’obukugu bwe nail nfunye mu makkampuni ago, neegatta ku kitongole kye byempuliziganya ekye Ggwanga ki Uganda Broadcasting Cooperation (UBC) nga omubalirizi we bitabo omuto, amangu ddala ne nkuzibwa okufuuka akulira ekitongole kye bye nsimbi okumala emyaka 2.

Eyo navaayo ne ngenda mu kitongole ekivunanyizibwa ku kasiimo ka bakozi, Uganda Retirement Benefits Regulatory Authority nga akulira ebyensimbi gye nava ne nkwasibwa omulimu gw’okukulira ebye nsimbi mu kitongole ekivunanyizibwa ku ndaga muntu ki NIRA n’okutuusa kati gye nkolera.

Emirimu gyange egy’okubala ebitabo ngikolera mu kkampuni ya J&K  esangibwa mu Kampala.

Ndi muntu akwatibwako ennyo nga waliwo abantu abali mu mbeera embi, kubanga nange yadde nina we ntuuse naye tebibadde byangu, era nga yeemu ku nsonga eyantanula okwagala okuvuganya ku kifo ky’omubaka wa Lwemiyaga.

Obutafananako nga banange abalala bwe tuvuganya nze nazaalibwa Lwemiyaga, gye nakulira ate n’okusoma kwanga kwonna gye kwali nga teri ayinza kunnimba kintu kyonna yadde ebisoomoza abantu baffe mu kitundu.

Kateeba byasuubira okukolera Lwemiyaga.

Nga mpereddwa omukisa okukulembera abantu baffe, ngenda kulaba nga nsooka okugatta abantu baffe mu kiseera kino abeeyawuddemu olwe by’obufuzi, nga mbalaga ekkubo lye tulina okukwata nga bannaLwemiyaga, saako n’okulaba nga twanganga ebizibu ebitwolekedde okusobola okugenda mu maaso.

Ngenda kukunga abantu baffe okusobola okwenyigira mu byenkulakulana ebitandikira mu maka gaabwe, okuzaamu esuubi abavubuka n’abakyala  baffe nga begattira mu bibiina bye nkulakulana basobole okufuna okuyambibwa okusitula emirimu gye bakola Lwemiyaga adde ku ntikko.

Enguudo ennungi, Amazzi amayonjo, ebyemizanyo ne bilala byonna tujja kufuba okulaba nga bikwatibwako mu kiseera kye naaba mpereddwa okukulembera Lwemiyaga.

John Patrick Kateeba musajja munnaKibiina ekiri mu buyinza ekya NRM lukulwe era nga mwetegefu okwenyigira mu Kamyufu ke Kibiina akabinda binda.

 

 

 

 



Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com

Share5Tweet3Send
Previous Post

Mesach Semakula last man standing as politics, money tear Golden Band in pieces

Next Post

Speaker Kadaga calls for support of Kamuli Development Plan

Next Post
Speaker Kadaga calls for support of Kamuli Development Plan

Speaker Kadaga calls for support of Kamuli Development Plan

Subscribe to Our Newsletter

Our news in your inbox. Subscribe to receive Watchdog Uganda news in your email at no cost.

Check your inbox or spam folder to confirm your subscription.

Facebook Twitter

Contact Information

Plot 23, Yusuf Lule Road
PO Box 7661 Kampala, Uganda
Office Line: +256 777 286 815
Email: editorial@watchdoguganda.com
To Advertise:Click here

© 2020 Watchdog Uganda

No Result
View All Result
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
  • Business
    • Agriculture
    • Finance
    • RealEstate
    • Technology
  • Op-Ed
  • Entertainment
    • Lifestyle
    • Showbiz
  • Sports
    • Football
    • Motorsport
  • Special Report
    • Education
    • People
  • Travel
  • Video
  • Luganda

© 2020 Watchdog Uganda

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Create New Account!

Fill the forms below to register

All fields are required. Log In

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In