EKIBIINA kye by’obufuzi ekimu ku bisinga obukadde mu Uganda ekya Democratic Party (DP) ennaku zino kiri mu kattu, olwa bakulembeze baakyo okwelumaluma saako n’okwelangira ebisongovu naye nga entabwe eva ku bukulembeze.
Abamu ku bakulembeze mu DP balumiriza omukulembeze waabwe Norbert Mao, Ssabawandiisi Gerald Siranda saako n’omumyuka wa pulezidenti Denis Mukasa Mbidde okwekobaana ne babuutikira buli muntu yenna mu kibiina agezaako okubaako kyayagala okukola.
Samuel Lubega Mukaaku nga ono munna DP Kakongoliro agamba nti buli kadde wagezaako okumanya ekigenda mu maaso mu kibiina nga akugirwa Siranda ne Mao, kyagamba nti kimenya mateeka kubanga bano kati ekibiina bakitambuliza mu nsawo zaabwe songa bandibadde baleka buli memba n’akyeyagaliramu.
Yawadde eky’okulabirako nga bano bwe balabika nga baawamba obuyinza bw’omuteesiteesi omukulu mu kibiina kya DP eyaliko omumyuka wa meeya wa Kampala Sulaiman Kidandala, nga kati ate be bakola emirimu gye yandikoze.
Anokoddeyo okulonda mu kibiina kya DP, kwagamba nti kuno kulina kutegekebwa mutesiteesi wa kibiina nti kyokka bano abakulu bagenda mu maaso ne balagira okulonda kugende mu maaso okugeza nga mu kitundu kye Mukono ne Masaka, okulonda kwagena mu maaso ku bilagiro bya Ssabawandiisi kyagamba nti kikyamu.
Gye buvuddeko Mao yayita abamu ku bannakibiina ky’akulembera EMOME, abasinga kye bagamba nti kyali kityoboola era nga kyakuvuma banaabwe, nga kino kyatuusa n’abamu ku babaka ba Palimenti abali ku tikiti ya DP abakulemberwa omubaka we Kalungu Joseph Sewungu Gonzaga okuyita olukiiko lwa bannamawulire nga balaba omukulu asusse.
Wabula yadde bano baatuula ne baabako bye basalawo naye Ssabawandiisi wa DP Gerald Siranda yabategeeza nga bwe batalina kye bayinza kukola kubanga akakiiko kaabwe tekalina mulimu mu Ssemateeka afuga ekibiina kya DP.
“Mpulira nti mwayita olukiiko lwa kabindo kammwe mu Palimenti, mwaluyita nga baani?? era mukola nga baani mu kibiina?” ebigambo ebyo bye bimu ku bisinze okutabula bannaDP abalowooza nti ekibiina kifuuse kya bannakyemalira mu kiseera kino.
Abatunuulizi bagamba nti kino kyandiviirako ababaka ba DP okusalawo obutaddamu kuggira mu kaadi ya kibiina ne basalawo okujja nga bantu.
Gyebuvuddeko era amyuka Pulezidenti wa DP mu ngeri yeemu nga yakolanga Ssentebe wa DP mu Disitulikiti ya Masaka yagoba abamu ku ba memba ku lukiiko lwe kibiina olwa Disitulikiti nga agamba nti baali bavudde ku nkola ye kibiina era obuyinza nabwezza nga kati Masaka naye ali ku muliro.
Sulaiman Kidandala Wiiki ewedde yawandiika ebbaluwa nga asinzioira mu offiisi ye nga omutesiteesi we kibiina mwe yasinziira nayimiriza emirimu gye kibiina gyonna egyali gigenda mu maaso okwetoloola eggwanga omwali n’okulonda mu bitundu ebimu nga agamba nti byonna tebyali mu mateeka, wabula bino byonna abakulembeze ab’okuntikko mu DP byonna babizimuula.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com