EKITONGOLE ky’amaggye gw Ggwanga ne Poliisi basazeeko offiisi z’ekisinde kya People Power ekisangibwa e Kamwokya ku nkingizzi ze kibuga Kampala.
Kino kidiridde Omukulembeze we kisinde kino Robert Kyagulanyi Sentamu okulangirira nga bwagenda okutuuza olukiiko lwa bannamawulire ayogere ku nsonga ezabaddewo olunaku lwe ggulo bwe yagaaniddwa okukuba olukungaana olwabadde lugendereddwamu okwebuuza ku bantu ku bikwatagana ku nsonga y’okwesimbawo kwe, lwe yabadde ategekedde ku ssomero lya Our Lady of Good Counsel.
Mu kiro ekikesezza olw’okubiri Kyagulanyi yatereddwa okuva ku poliisi ye Naggalama gye yabadde asibiddwa wamu n’abantu be bonna, era nadda mu makaage agasangibwa e Magere mu Wakiso.
Ono yategezezza nga bwe yabadde agenda okwogera ku byonna ebyabaddewo olunaku lwa mande, saako ne nsonga lwaki Poliisi yabadde egaanye olukungaana lwe yabadde ategese mu kibuga kye Gulu ku lw’okubiri.
Kigambibwa nti Kyagulanyi n’abamu ku babaka ba Palimenti ababadde bakatuuka e Kamwokya Amaggye ne Poliisi babasaliddeko munda mu office era nga tewali muntu yenna gwe bakkiriza kusalimbira mu kifo kino.
Mu kusooka kyagulanyi agambye nti babadde tebayinza kweyongerayo mu Disitulikiti ye Gulu nga tebamaze kutaasa banaabwe baakwatiddwa olunaku lwe ggulo.
Agambye nti lwo olukiiko lwe Lira lugenda kugenda mu maaso kubanga baamaze okutuukiriza ebisanyizo byonna ebyetagisa.
Abatuuze mu kitundu kye Kamwokye beemulugunyizza ku nkola ya Poliisi n’amaggye bye bagambye nti basasamazza nnyo ekitundu nga kwotadde okutataaganya eby’obusuubuzi mu kitundu kino.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com