BANNA Bukomansimbi kyadaaki bafunye esuubi ly’okuva mu bwavu obubalumidde ekiseera, bwe bafunye Bbanka y’obwegassi egenda okubawola sente ezitaliiko magoba beekulakulanye.
Bbanka eno emanyiddwa nga Mixed Bukomansimbi Farmers Sacco nga ekitebe kyayo kisangibwa mu kibuga kye Bukomansimbi mwenyini, era nga yatereddwamu ensimbi obukadde 200 omusuubuzi Salim Kisekka.
Kisekka ono nga mwana nzaalwa mu kitundu kino agamba nti emu ku nsonga ezaamulowozesa okuyamba ku bannaBukomansimbi kwe kuba nti abalimi, Abalunzi n’abasuubuzi balemererwa okusitula omutindo gwa byebakola, ekiletawo okujeregebwa abava e Kampala ne babadondola songa baba bataddemu maanyi mangi nnyo, ekintu kyagamba nti kilina okukyuka omunaku naye afune ekiwera agaggawale.
“Banange twelwaneko nnyo tuve mu bwavu kubanga bwe butujoogesa bannabyabufuzi olw’okuba baba balina ssente, naffe kati njagala tuzikole nga bwe tutereka ziwere tusobole okweyamba ffekka n’affekka
Ensimbi obukadde 200 z’embawadde ntono naye njagala mundage nti mukola nga mujjayo era nga bwe mutereka awo nange ndyoke ndabe we nzija endala obukadde 300 twongere mu bbanka yaffe tulabe oba obwavu tetubufuuwe mu ngombe.
Sente zino ssi z’abyabufuzi era temugeza ne muzitabiikiriza mu bintu ebifananako bwe bityo, wabula nze kye njagala buli omu abeeko kyasobola okukola, okuwerera abaana bammwe, okugatta omutindo ku bye mukola, okwongera mu bizinensi zammwe ate nga temumpa magoba kubanga nze ndi mwana wammwe bino bye bibala bye mulina okunfunako nga nkyali mulamu.
Nkiddamu Sente zino tekuli magoba, era omuntu bwafa nga alina ebbanja likoma ku ye nga omuntu omulamu, teri mulekwa agenda kusikira bbanja lya Kitaawe oba Nnyina yadde okutunda ebibye nti biliwe ebbanja lya Bbanka” Kisekka bwe yategezezza oluvanyuma lw’okukwasa ensimbi abakulembeze ba bbanka eno.
Ono era yagenze mu maaso n’akwasa abakakiiko ekyapa kye ttaka okutudde ekitebe kya Bbanka nabakuutira okukikuuma obulungi kubanga bayinza okufuna abantu abangi abaagala okwewola ensimbi ate nga zebakozesa ziweddewo, ekyapa kino ne bakikozesa okwewola mu bbaka ennene ne bazaayo mpola mpola ate nga bwe bakola.
Ssentebe w’olukiiko olufuga bbanka eno Abduh Serubula Nsereko mu kwogerakwe yategezezza nti baatandika ne ba memba 40 bokka nti naye kati balina abasoba mu 300 kye yagambye nti ate bano basuubira okweyongerako okutuuka mu 2000.
Yagambye nti babadde balinawo obukadde 8 bwokka mu ggwanika lyabwe, nagamba nti 200 ebyabawereddwa bigenda kubasindika nnyo kubanga abantu beetaaga ensimbi nnyingi okuteeka mu bye bakola ezibadde zitaliiwo.
Bonna obutesalamu abeetabye ku mukolo gw’okuggulawo bbanka eno mu butongole baasimye omwana wabwe Kisekka olw’okulowooza ennyo ku kitundu gyazaalibwa era ne bamusuubizaa okukozesa obulungi bbanka eno basobole okwekulakulanya.
Ekitundu kye Bukomansimba kyesigamye nnyo ku bulimi n’obulunzi nga kati n’obusuubuzi bugenda bweyongera olw’oluguudo mwasanjala olwakolebwa Gavumenti.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com