Omukulembeze we kibiina kya Nationala Unity Platform NUP Robert Kyagulanyi Sentamu yekengedde embeera omuwandiisi we bitabo Kakwenza Rukira Bashaija gy’alimu nagamba nti yandiba nga yakubwa nnyo natuusibwako ebisago ebyamaanyi nga kiyinza okuswaza ab’ebyokwerinda singa bamuta nalabikako mu bantu.
Kyagulanyi agamba nti embeera eno naye yamutuukako bwe yakwatibwa mu bitundu bya Arua bwe yali agenze okuwenjeza eyali omubaka Kasiano Wadri akalulu.
Nga asinziira ku mukutu gwe ogwa Facebook Kyagulanyi atottodde embeera gye yayitamu ne ngeri abakuuma ddembe gye baamutulugunyamu natuuka okuvundira mu kkomera, kyokka nga teri muntu we gwe bakkiriza kumulabako yadde.
“Muganda wange Kakwenza alabika byayitamu mu kiseera kino nange bye nayitamu kubanga abasajja abansanga mu kasenge gye nali nsula bangwako ekiyiifuyiifu ne bankuba nzenna ne mpulubala, emikono, amagulu ne mba zonna ne zizimba nga kyali kizibu okunta nga yadde waaliwo ebitongole ebilwanirira eddembe bingi ebyali bitadde akazito ku Gavumenti bante.
Kino kyali kyeraga lwatu nti tebasobola kunta kubanga nali ndabika bubi nnyo nga ab’ebyokwerinda bayinza okuswala nga mu mbeera eyo baali balina okulindako nsooke mmale okuddamu okulabika obulungi olwo balyoke bandeete mu kkooti ensi endabe.
Mu kiseera ekyo waaliwo abasawo ba maggye abajjanga ne bannambulako saako n’okunekebejja balabe embeera mwendi, era baliko ne ddagala lye bankubanga lye nategeezebwa nti lyali likkakkanya obulumi saako n’okuzimba kw’omubiri.
Oluvanyuma nga balaba sitiisa bakkiriza munnamateeka wange Medard Seggona n’omubaka Asuman Basalirwa okundabako mu kkomera e Gulu okukakasa nti nali nkyali mulamu, oluvanyuma ne ntwalibwa mu kkooti” Kyagulanyi bwanyonyodde.
Yadde nga waliwo ekkiragiro kya kkooti okuta Kakwenza awatali kakwakkulizo konna, kyokka mu kiseera kino ab’ebyokwerinda bakyagaanyi okukitekesa mu nkola olw’ensonga ezitamanyiddwa.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com