MINISITA we nsonga z’obwaPulezidenti Milly Babirye Babalanda alidde mu ttama n’awera okufafagaana n’ekibinja kyabantu bagamba nti bano beefunyiridde okunyaga bannaUganda nga babasuubiza okubafunira emirimu mu offiisi y’obwaPulezidenti.
Babalanda agamba nti kino kiddiridde ye kenyini okufuna obubaka obuyitirivu okuva mu bantu nga bamutegeeza nga bwe waliwo ekibinja kya bantu abeeyita abakola mu offiisi ye nga bano bagenda bajja ku banaabwe ensimbi mu lukujjukujju nga babalimba nti bagenda kubafunira emirimu emisava omuli obwa RDC ne milala.
Asuubira nti abagenda okwetoloolerako obunyazi buno mulimu abakunzi be kibiina kya NRM okwetoloola e Ggwanga, Bannabyabufuzi abaagwa mu kalulu akaggwa, Abakozi ba Gavumenti abawummula ne bannaby’abusuubuzi.
Bano abalabudde obutagwa mu katego k’ababbi mu kiseera kino baanoonya okukwata nga tebannanyaga nnyo.
Ono era ataddewo e nnamba za masimu ge eri oyo yenna alina kyamanyi ku muntu eyamusaba ensimbi wakati mu kumusuubiza ekifo kyonna mu offiisi ye 0772342782 ne 0754269719.
“Essimu ezo zonna zange era nze nekwatira teri mulala munkubire tulwanyise obuyaye obwagala okuyingira mu Offiisi y’omukulembeze we Ggwanga, kubanga teri mulimu gwe tugaba nga omuntu amaze kuwaayo nguzi tugoberera busobozi, era abo bonna bajjiddwako ensimbi mujje mumbuulire baani abazibajjako tubakwate bavunanibwe” Babalanda bwe yategezezza.
Era Minisita yatongozza e Nnamba ye ssimu 0800320320 etali yakusasulira eri oyo yenna eyetaaga obuyambi okuva mu offiisi ye naddala abalina kye baagala okwogerako naye ku nsonga z’okutuusa obuwereza obulungi mu bantu ba wansi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com