• Contact Us
  • About Us
  • Advertise
  • Donate
  • Login
Watchdog Uganda
Advertisement
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
    • Africa News
    • Community News
    • Luganda
    • Sports
      • Football
      • Motorsport
  • Op-Ed
    • #Out2Lunch
    • Conversations with
    • Politics
    • Relationships
  • Business
    • Agriculture
    • CEOs & Entrepreneurs,
    • Companies
    • Finance
    • Products
    • RealEstate
    • Technology
    • Travel
  • Entertainment
    • Lifestyle
    • Showbiz
  • Salon Mag
  • Special Report
    • Education
    • People
    • Voices
  • Reviews
    • Products
    • Events
    • Hotels
    • Restaurants
    • Places
  • Video
  • Donate
No Result
View All Result
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
    • Africa News
    • Community News
    • Luganda
    • Sports
      • Football
      • Motorsport
  • Op-Ed
    • #Out2Lunch
    • Conversations with
    • Politics
    • Relationships
  • Business
    • Agriculture
    • CEOs & Entrepreneurs,
    • Companies
    • Finance
    • Products
    • RealEstate
    • Technology
    • Travel
  • Entertainment
    • Lifestyle
    • Showbiz
  • Salon Mag
  • Special Report
    • Education
    • People
    • Voices
  • Reviews
    • Products
    • Events
    • Hotels
    • Restaurants
    • Places
  • Video
  • Donate
No Result
View All Result
Watchdog Uganda
No Result
View All Result

Olutalo lw’okulwanira e Gombolola ye Nakisunga e Mukono lukaaye!! NUP ne NRM ani atwala Munne??

Kizito Moses Buule by Kizito Moses Buule
2 years ago
in Luganda, National, News, Politics
0 0
Sentebe Mubarack Sekikubo aliko kati owa NRM ku kkono ne Bogere Nsensebuse owa NUP avuganya

Sentebe Mubarack Sekikubo aliko kati owa NRM ku kkono ne Bogere Nsensebuse owa NUP avuganya

ShareTweetSendShare

OLUTALO lw’okulwanira obukulembeze bwe Gombolola ye Nakisunga e mukono lw’eyogeddemu ebbugumu abeesimbyewo balwana okusobola okufuna obuwanguzi.

Kino kyeyolekedde mu kunoonya obululu emirundi egisembayo nga bannaNUP abaayitamu nga bakulemberwa Omubaka wa Palimenti wa Munisipaari ya Mukono era nga ono ye Ssentebe wa NUP mu Disitulikiti ye Mukono Betty Nambooze okugenda ne banne okusaggulira obuwagizi omuntu waabwe eyesimbyewo, Susan Bogere Nsensebuse.

Okuvuganya okwamaanyi kuli wakati wa Ssentebe aliko Mubarack Mubiru Sekikubo owa NRM ne Susan Bogere Nsensebuse owa NUP nga abawagizi ba bano buli omu awera kuwangula ntebe eno.

Sekikubo agamba nti ye talina kyatidde mu kalulu kano yadde nga bannakibiina banne bangi bagudde, kyagamba nti obuwagizi abulina nti era eby’obufuzi bye tabyesigamya nnyo ku bibiina bya bufuzi.

Agamba nti akoze emirimu n’abantu be kitundu mwazaalibwa nga tasuubira nti bayinza okumuvaamu olw’omuggundu gwa NUP.

Ono azaalibwa mu muluka gwe Katente era nga gyakulidde, yaliko kkansala akiikirira e Gombolola eno ku lukiiko lwa Disitulikiti ye Mukono ekisanja kimu bwe yakimalaako nadda ku bwa Ssentebe ekifo kyamazeemu emyaka 5.

Ono awagirwa nnyo ba Ssentebe be byalo mu Nakisunga saako n’abavubuka.

Nsensebuse Bogere Susan ono ava mu muluka gwe Kiyoola oguliranye Katente kyokka nga abadde tamanyiddwa nnyo mu byabufuzi bya Gombolola eno, wabula kigambibwa nti eno bukojja bwe era nga alinayo ettaka n’amaka.

Ono yaliko omukubiriza w’olukiiko lwa Division ye Mukono mu kisanja eky’omwaka gwa 2011-2016 era ne yeesimbawo ku bwa Sentebe bwa Division eno kyokka ebintu ne bitagenda bulungi kwe kudda e Nakisunga gyavuganyiza kati ku bwa Ssentebe.

Ebibiina mwe bali bibayambyeko?

Yadde nga ebibiina by’obufuzi mu kiseera kino bivuddeyo ne biyamba ku bantu baabwe, kyokka e Nakisunga abakulembeze mu kibiina kya NRM tebavuddeyo kuyamba muntu waabwe, Tugezezaako okwogera ne Ssentebe wa NRM e Mukono Haji Twahir Sebaggala kyokka natalambulula bulungi lwaki tebayambye Sekikubo nga banaabwe abali ku ludda oluvuganya bwe bayamba owabwe.

Betty Nambooze akulira NUP yalabiseeko mu kitundu kya Mukono South nga asaggulira abantu be bonna ab’esimbyewo obuwagizi basobole okuwangula.

 


Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com

ShareTweetSendShare

Related Posts

Former REA staff (R) appearing before the committee. One the left is Hon, Eddie Kwizera
National

Former REA staff petition Parliament over unfair termination

29th March 2023 at 10:08
Hon. Babalanda (2nd R) appearing before Cosase chaired by Ssenyonyi (R)
National

Minister Babalanda defends decision to fire corrupt UPPC bosses

29th March 2023 at 09:53
President Yoweri Museveni with the former Chancellor of Austria His Excellency Alfred Gusenbauer
National

President Museveni meets former Chancellor of Austria, discuss investment opportunities in Uganda

29th March 2023 at 00:08
Next Post
Rebecca Kadaga, President Museveni and Jacob Oulanyah

Behind Museveni's dilemma on who to back for Speakership between Kadaga and Oulanyah

Facebook Twitter

Contact Information

Watchdog Uganda is a portal for solution journalism, trending news plus cutting edge commentaries in the fields of politics, security, business, tourism, entertainment, technology, agriculture, climate change, environment, public health et al. We also give preference to Ugandan community news and topical discussions. The portal also publishes community news and topical discussions.

Plot 23, Yusuf Lule Road
PO Box 7661 Kampala, Uganda
Office Line: +256 777 286 815
Email: editorial@watchdoguganda.com
To Advertise:Click here

Follow Us on Twitter

Tweets by watchdogug

Follow Us on Facebook

© 2022 Watchdog Uganda

No Result
View All Result
  • News
  • Business
  • Op-Ed
  • Entertainment
  • Travel
  • Special Report
  • Video
  • Luganda

© 2022 Watchdog Uganda

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In