ABANTU 2 bakakasiddwa okuba nti be baafiiridde mu kizimbe eky’emyaliriro egiwerako ekyagudde mu kibuga kye Jinja akawungeezi k’olwokusatu.
Omwogezi wa Poliisi mu kitundu kye Jinja Diana Nandawula yakakasizza bino bwabaddea ayogerako ne bannamawulire enkya ya leero.
Agambye nti Poliisi ezikiriza omuliro saako n’abatuuze baakoze butaweera okusobola okutaasa abantu ababadde mu kizimbe munda era nga baasobodde okutaasa bantu 13, saako ne mirambo ebiri gye baatutte mu ddwaliro ekkulu e Jinja.
Anyonyodde nti abasimattuse 8 baatwaliddwa mu ddwaliro lye Jinja gye bajjanjabirwa kati. naye nga kawefube w’okuzuula abalala akyagenda mu maaso.
“Tusobodde okupangisa ka tulakita akayikuula amafunfugu okusobola okutuyambako okusobola okulaba nga tuzuula abantu abalala abateberezebwa okuba nti bakyali mu mafunfugu munda” Nandawula bwagambye.
Okusinziira ku bakawonawo baategezezza nti munda mwabaddemu abantu abakunukkiriza mu 40 nga bano baabadde bali ku mulimu gwa kuzimba munda.
Omubaka wa Gavumenti e Jinja Eric Sakwa yanenyezza ba yinginiya bakwata kontulakita y’okuzimba ekizimbe kino bagamba nti bandiba nga emirimu baagikola gadibe ngalye, saako n’okukozesa ebizimbisibwa ebitali ku mutindo.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com