OLUVANYUMA lwa bakulembeze okuli owa Uganda ne Rwanda okusisinkana gye buvuddeko mu kibuga Ruanda ekya Angola ne babaako enzikiriziganya saako n’okuteeka emikono ku ndagaano ezagendererwamu okukomya obutakkaanya wakati wa mawanga gombiriri, olwaleero Gavumenti ya Uganda esazeewo okuyimbula saako n’okuzzaayo bannaNsi ba Rwanda abaali baakwatibwa era ne basibibwa wano.
Bano era ne misango egibadde gibavunanibwa gyabaggiddwako nga omu ku kawefube w’okutuukiriza endagaano ezassibwako emikono abakulembeze okuli owa Uganda Yoweri Kaguta Museveni saako ne Paulo Kagame owa Rwanda.
Mu gimu ku misango egibadde gibavunanibwa kubaddeko okusangibwa ne by’okulwanyisa mu bumenyi bwa mateeka nga bakaalakaala nabyo mu Nsi etali yaabwe.
Mu lukungaana lwa bannamawulire olutudde ku wooteeri ya Serena mu Kampala ku lw’okusatu nga lwetabyemu Omubaka wa Rwanda mu Uganda Maj. Gen. Frank Mugambagye saako ne Minisita wa Uganda owe nsonga ez’ebweru Sam Kahamba Kuteesa, balaze bannamawulire abantu 9 abaali baakwatibwa ne baggalirwa mu makomera agenjawulo mu Uganda.

Bano kuliko; Mugabo Nelson, SGT Rene Rutagungira, Etiene Nsanzabasizi, Claude Yakalemye, Emmanuel Rwamuchwo, Augustine Rutaisire, Cpl Nziyimana Herman, Munyagabe Adrian ne Urayeneza Gilbert.
Minisita Kuteesa agambye nti kino bakikoze mu mutima ogw’obwa Sseruganda wakati wa mawanga gombiriri nti era basuubira Gavumenti ya Rwanda okubaniriza obulungi, kubanga Uganda ekikoze mu mutima mulungi.
“Tugenda kukola ekyetaagisa okusobola okutuukiriza byonna ebyali mu ndagaano eyatekebwako emikono mu Ggwanga lya Angola okusobola okuzzaawo enkolagana wakati waffe ne Ggwanga lya Rwanda, era ne bilala ebyakkanyizibwako tujja kubikolako mu lwatu nga ensi elaba nga bwe tukoze olwaleero” Kuteesa bwe yagambye.
Ye omubaka wa Rwanda mu Uganda Maj. Gen. Frank Mugambagye ategezezza nti kilungi nti bannansi baabwe bayimbuddwa, kyokka nalaga obwetaavu eri ab’obuyinza mu Uganda okuyimbula n’abasibe balala abanyarwanda abakyali mu makomera mu Uganda kyagambye nti kigenda kwongera okunyweza enkolagana wakati wa mawanga gombi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com