OMUKULEMBEZE we kisinde kya People Power era omubaka wa Kyadondo East mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu Robert Kyagulanyi Ssentamu amaze okukola entekateeka z’okutalaaga e Ggwanga lyonna nga yebuuza ku bantu ku nsonga z’okuvuganya ku bwa Pulezidenti.
Kawefube ono atandika ku mande nga 6, era nga abakulira akakiiko ke by’okulonda baamaze okumukkiriza okusinziira ku kiwandiiko ekyamukwasiddwa akakulira omulamuzi Simon Byabakama, eyamutegezezza nti alina okwewala okufuula enkungaana zino akadaala k’okunoonyezaako akalulu.
Okusinziira ku Kyagulanyi agamba nti enkiiko z’akutandikira mu kitundu gyava ekye Kyadondo East alyoke yeyongereyo mu mabuka ge Ggwanga.
Agamba nti olukiiko lwe Kyadondo lugenda kubeera ku ssomero lya Our Lady oif Good Counsel e Gayaza.
“Tujja kugoberera amateeka gonna abakulu mu kakiiko ke by’okulonda wamu n’abebyokwerinda ge baatuwadde okugoberera, era tetusuubirayo muntu yenna kututataganya wakati nga tukola enkiiko zaffe” Kyagulanyi bwe yagambye.
Kyagulanyi yoomu ku bantu abamaze okwesowolayo okwesimbawo ku kifo ky’obukulembeze bwe Ggwanga era nga n’abalala basuubirwa okumwegattako omuli Dr. Kiiza Besigye, Joseph Mwambazi, Yoweri Kaguta Museveni nabalala.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com