ABATUUZE abakakkalabiza emirimu gyabwe okuli abatunda amadduuka n’abafumba emmere ku nsalo ya Uganda ne Rwanda e Katuna ge bakaaba ge bakomba oluvanyuma lw’okuggala ensalo z’amawanga gombiriri, bano bagamba nti boolekedde okufiirwa buli kimu, oluvanyuma lw’okuba nti tebakyakola.
Bano bategezezza nti basuubula ebintu naye ebisinga bifa, naddala eby’okulya oluvanyuma lw’okubula ababigula kubanga buli abantu tebakyajja kukola ate nabasigalawo baavu byansusso.
Janet Mbabazi omu ku balina wooteri emanyiddwanga Classic Hotel agamba nti bakeera kumakya ne bagula emmere gye batekeratekera abayise mu zi baasi nga bamanyi nti oba oli awo abakulu banaaba bamalirizza enteseganya zaabwe abantu ne baddamu okutambula, nti naye kibabuukako obudde ne buziba nga tebalabye ku muntu yenna, era ekiddirira mmere kugiyiwa ku kasasiro.
Agamba nti bafiiriddwa nnyo kubanga yali bayingiza ensimbi emitwalo gya Uganda 150,000 nga amagoba buli lunaku nti naye kati n’okufuna 30,000 aba atobye nnyo.
“Twasasula ebizimbe kwe tukolera ensimbi mpitirivu, kyokka tetukola abantu tebakyajja, kati nasazeewo abakozi abamu ne mbawummuza nga silina ze mbasasula kubanga tebakyalina na mirimu batuula butuuzi, kyokka ekyewunyisa n’abantu abaasigala nga bakuuma emmotoka zaabwe tebakyalina sente kubanga bw’obagamba nti caayi wa 1500 badduka buddusi nga baagala kukuwa 500 zokka.
Kye twagala Pulezidenti Museveni ne Pulezidenti Kagame batuule bakkaanye abasubuzi baddemu okutambula naffe tukole kubanga twolekedde okuggala bizinensi zaffe tuddeyo tutuule awaka ekintu ekitali kirungi naakamu.” Mbabazi bwe yategezezza.
James Bukwaya nga ono alina edduuka elitunda ebintu by’abulijjo e Katuna agamba nti okuva lwe baggala ensalo taddangamu kukola nga bwe yali akola kubanga abantu tebakyatambula ku nsalo era nga tewali kitambula ku sayidi ya basuubuzi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com