• Contact Us
  • About Us
  • Advertise
  • Donate
  • Login
Watchdog Uganda
Advertisement
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
    • Sports
      • Football
      • Motorsport
  • Business
    • Agriculture
    • Finance
    • RealEstate
    • Technology
  • Op-Ed
  • Entertainment
    • Lifestyle
    • Showbiz
  • People
    • Entrepreneurs
    • Stars
    • Politicians
  • Special Report
    • Education
  • Travel
  • Video
  • Luganda
No Result
View All Result
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
    • Sports
      • Football
      • Motorsport
  • Business
    • Agriculture
    • Finance
    • RealEstate
    • Technology
  • Op-Ed
  • Entertainment
    • Lifestyle
    • Showbiz
  • People
    • Entrepreneurs
    • Stars
    • Politicians
  • Special Report
    • Education
  • Travel
  • Video
  • Luganda
No Result
View All Result
Watchdog Uganda
No Result
View All Result

Munonyeze abaana amasomero amalungi, temufa ku matiribona g’abizimbe, Bp. Ssebaggala

Kizito Moses Buule by Kizito Moses Buule
2 years ago
in Education, Luganda, National, News
4 0
Share on FacebookShare on Twitter

OMULABIRIZI w’e Mukono, James William Ssebaggala alabudde abazadde naddala abalina abayizi abaatudde ekibiina ekya P.7 okw’egendereza mu kaweefube gwe balimu ow’okunonyeza abaana baabwe amasomero gye banaasomera S.1 n’abo abali mu bibiina ebirala.

Bp. Ssebaggala agamba nti ensangi zino abazadde bafa ku masomero galina bizimbe bya kkalina nga n’ebisale byago biri waggulu ng’ago gye bateeka abaana okusomera ky’agamba nti kino si kituufu.

“Tuwulira abazadde abaabadde n’abayizi abatuula eky’omusanvu mu masomero agali mu bibuga agaludde nga geeriisa nkuuli mu kuyisa abayizi kyokka nga ku mulundi guno tekyasobose, nga kati bali mu kwemulugunyiza kitongole kye bigezo mbu babadde baasasula ensimbi nnyingi ate abayizi baabwe ne batayita nga bwe babadde basuubira, nze omusango ngusalira bazadde abo bennyini,” Bp. Ssebaggala bwe yategeezezza.

Ku ntandikwa ya ssabbiiti eno, omuwandiisi w’ekitongole ky’ebigezo ekya UNEB, Dan Odong yategeezezza ng’amasomero agekwasa nti baagagolola bubi ne kireetera abayizi baabwe obutakola nga bwe baali basuubira nti ebyo geekwasa bwekwasa era bye googera si bituufu.

Okwogera bino, Bp. Ssebaggala yabadde ku ssomero ly’Obulabirizi erya Bishop West P/S nga lyebaza Katonda olw’okuyisa obulungi abayizi mu PLE ssaako okukwasa abayizi amabaluwa gaabwe.

Hill Water

Omukulu w’essomero lino Lydia Nakachwa yategeezezza ng’essomero bwe lyatuuza abayizi 22 nga 16 baayitidde mu ddaala lisooka ate 6 ne bayitira mu ddaala ery’okubiri.

“Tetuyinza kukkiriza mu masomero gaffe bikolwa byabulyake, obuseegu gamba ng’okukabassanya abayizi bye tuwulira mu masomero amalala n’emize emirala agyetabangamu asookanga kusiibula,” bwe yalabudde



Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com

Share40Tweet1Send
Previous Post

Zaga to Express, Maddoi shown exit as Vipers trim squad

Next Post

Why are you hobnobbing with Abenakyo? Parliamentarians quiz Kiwanda

Next Post

Why are you hobnobbing with Abenakyo? Parliamentarians quiz Kiwanda

Subscribe to Our Newsletter

Our news in your inbox. Subscribe to receive Watchdog Uganda news in your email at no cost.

Check your inbox or spam folder to confirm your subscription.

Facebook Twitter

Contact Information

Plot 23, Yusuf Lule Road
PO Box 7661 Kampala, Uganda
Office Line: +256 777 286 815
Email: editorial@watchdoguganda.com
To Advertise:Click here

© 2020 Watchdog Uganda

No Result
View All Result
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
    • Sports
      • Football
      • Motorsport
  • Business
    • Agriculture
    • Finance
    • RealEstate
    • Technology
  • Op-Ed
  • Entertainment
    • Lifestyle
    • Showbiz
  • People
    • Entrepreneurs
    • Stars
    • Politicians
  • Special Report
    • Education
  • Travel
  • Video
  • Luganda

© 2020 Watchdog Uganda

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Create New Account!

Fill the forms below to register

All fields are required. Log In

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In