MINISITA omubeezi owa Kampala Kabuye Kyofatogabye alabudde akulembera abasuubuzi mu katale ka st. Balikuddembe Suzan Kushaba okukomya okweyingiza mu bitamukwatako omuli okutaputa ebilagiro bya Pulezidenti saako ne bya SsabaMinisita ekifuula nnenge, nagamba nti byandimuleetera ebizibu singa tamanya waalina kukoma.
Kino kiddiridde Kushaba okuvaayo nategeeza nga ebilagiro ebyatereddwawo SsabaMinisita Robina Nabbanja ku butale okuli ak’eWandegeya saako ne Nakasero abakulembeze bonna okusooka okuddako ebbali, ye byagamba nti tebimukwatako mu Owino era nagenda mu maaso n’alaga nti tewali ayinza kumukwatako, nga kino kye kyajje Minisita Kyofatogabye mu mbeera n’amutegeeza nti alina kufa ku bimukwatako ssi kubuukira buli kyaba awulidde.
“Kushaba ensonga z’obutale alina okuzigenda empola ennyo, kubanga bino ebikolebwa kati bilagiro bya mukulembeze wa Ggwanga ffenna yatufuga, kale bwe kiba tekinatuuka wuwe saagala yeyibaale kuba kiyinza okuba nti kiri ku mulyango gwe essawa yonna.
Obutale obwo bwonna bwatekebwawo abasuubuzi bonna basobole okunonyezaamu ekigulira Magala eddiba, naye twakizuula nti abamu ku bakulembeze bwonna babwezza era n’emidaala egisinga obungi bebagikozesa, ne kiletawo okuba nti abamu ku basuubuzi baffe tebabufunamu ate nga bwabwe, eno ye nsonga lwaki omukulembeze we Ggwanga yasalawo abantu bonna baganyulwe kyenkanyi mu butale buno era kyova olaba nga mukadde waffe Ssabaminisita agezaako okutereeza” Kyofatogabye bwe yagambye bwe yabadde awayaamu ne radio ya CBS.
Yategezezza nti waliwo n’obukundi obwatekebwawo abakulembeze b’obutale nga buno babukozesa okubakuumira mu buyinza saako n’okukola effujjo nagamba nti bulina okusattululwa era n’emisolo egisasuzibwa abasuubuzi egitali mu mateeka nagyo gy’akuvaawo.
Yayongeddeko nti teri katale mu Kampala ke batagenda kutuukamu okusobola okumanya ebizibu abasuubuzi bye bayitamu era nga bwe kinazuulibwa nti obukulembeze obuliwo tebukola bulungi bwakuzzibwa ku bbali okusobola okutereeza.
Ye Suzan Kushaba akyagenda mu maaso n’okuwera nga bwatagenda kuwaayo buyinza mu katale ka Owino nga agamba nti ye ebilagiro bya bakulu tebimukwatako.
Gye buvuddeko abasuubuzi mu butale bwa Kampala beekubira enduulu eri ba Minisita ba Kampala saako n’omukulembeze we Ggwanga nga beekokkola obukulembeze bwabwe olw’okubatulugunyanga entakera saako n’okusasuzibwa emisolo egitali mu mateeka nga kino kye kyatanula Pulezidenti Museveni okutuma ssabaminisita Nabbanja saako ne ba Minisita ba Kampala okusobola okutawulula enkayana zino.
Ono era yabawa n’obuyinza obw’enkomeredde okubaako kye bakola wakati mu kutereeza obutale saako n’okutebenkeza abasuubuzi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com