MINISITA we Nguudo n’ebyentambula Gen. Edward Katumba Wamala yawunikirizza Palimenti ye Ggwanga ku lw’okusatu bwe yategezezza nti ebimu ku bizibu Minisitule ye byesanze kwe kuba nti abantu basaba ensimbi nnyingi wakati mu kuliyirirwa ku ttaka lyabwe basobole okuyisaawo oluguudo.
Ono yanokoddeyo ekika ekimu ku luguudo oluggya olumanyiddwanga Busega Mpigi Express, kye yagambye nti oluguudo lwayita mu ttaka lyakyo era ne babaako n’omuti oguwanuuzibwa okuba ogw’emisambwa gwe baalina okujjawo kyokka abakulira ekika ekyo ne bagaana nga bagamba nti bwe beebuzizza ku ba jjajja babategezezza nti esente ze babasasula ntono nnyo.
Kyategerekese nti Gavumenti yatwala ababalirizi baayo era ne bavaayo ne mbalirira ya bukadde bwa Uganda 150, kyokka abakulira ekika ne bagaana nga bagamba nti emisambwa gyasabye obukadde 500, ekyewunyisizza ababaka.
Katumba eyabadde awa alipoota ye ku bikwata ku nguudo, ne nsonga lwaki ezimu zitambula kasoobo era nga yatekeddwa ku nninga ababaka anyonyole yagambye nti, bino bye bimu ku bizibu Gavumenti byesanga wakati mu kukoala enguudo nti kubanga tebasobola kukozesa ttaka lya muntu nga tanasasulwa.
Yanyonyodde nti ekitongole kye nguudo kikyagenda mu maaso n’okuteesa n’abakulira ekika abagamba nti emisambwa gyabwe gyonna giri mu muti ogwo basobole okutuuka ku nzikiriziganya.
Wabula abamu ku babaka abatayagadde kwatuukirizibwa mannya gabwe bagambye nti lino lyandiba ekkobaane wakati wa bakulu mu UNRA n’abekika okuleega ensimbi basobole okuzigabana nga ddiiru ewedde.
WABULA Katumba Bwe yabuuziddwa ku nsimbi ezirina okusasulibwa abantu abaakosebwa entekateeka y’oluguudo lwe Ggaali y’omukka Standard Gauge Railway yagambye nti entekateeka eno yali yakutandika mu mwaka gwa 2023 era nga basuubira nti egenda kugenda mu maaso amangu ddala nga ensimbi ezirina okusasulwa abantu zifunise
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com