OMUMYUKA wa Sipiika Anita Annet Among alagidde Minisita avunanyizibwa ku by’okwerinda Gen. Jim Muhwezi okuleeta mu bwangu olukalala lwa be by’okwerinda eb’enyigira mu kukuba abantu amasasi saako n’okubatulugunya alabe eky’okukola.
Ono era ayagala Minisita aleete olukalala lw’abantu abo abakyapooca ne bisago bya masasi, abaafa n’abatulugunyizibwa ekisusse wabeewo ekikolebwa.
“Njagala okumanyira ddala kiki kye mukozeewo kasokedde abantu bano baddukira gye muli, kubanga abantu bangi ab’ekubira enduulu mu offiisi yange nga tebayambiddwa” Anita bwe yategezezza ku kibanja kye ekya Twitter.
“Tetugenda kutunula butunuzi nga abantu battibwa n’okutulugunyizibwa ebitongole ebikuuma ddembe, songa omulimu gwabyo omukulu kukuuma bannaUganda ne bintu byabwe.
Buli kadde nfuna alipoota nnyingi ezilaga abantu abakubiddwa aamasasi nga bakyapooca n’ebiwundu mu malwaliro ag’enjawulo, abalala bafudde ne baleka Famire zaabwe, n’abalala batulugunyiziddwa ekisukkiridde naye nga ebitongole byaffe eby’ebyokwerinda tebilina kye bikolawo, kati njagala bampe enkala z’abantu abo bonna nzitunulemu n’olukiiko lwe Ggwanga lwonna tulabe kiki eky’okukolera abaatuusa ku bantu ebisago ne baani abalina obuzibu byonna tubigonjoole” Anita bwe yayongeddeko.
Kino kiddiridde abantu buli kadde okuvaayo ne balaga obutali bumativu eri ebitongole bye by’okwerinda saako n’abasilikale sekinoomu nga bwe basusse okubatulugunya nga naabamu bafiirwa obulamu bwabwe ne watabawo kikolebwa.
Ku nkomerero ya wiiki ewedde waliwo abantu 2 abaasuulibwa mu bitundu bye Nakawa nga baali bawambibwa abagambibwa okuba eb’ebyokwerinda era nga baatulugunyizibwa byansusso, oluvanyuma ne balondebwa abatuuze abaabatwala mu malwaliro.
Kino kyatabula n’akulira ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi Sentamu eyabasitula n’abatwala mu lukungaana lwa bannamawulire ne battotola engeri gye baakwatibwamu n’okutulugunyizibwa kwe babadde bayitamu.
Mu kiseera kino Minisita Muhwezi abadde tanaba kwanukula ku kilagiro kya Sipiika.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com