OMUKUBIRIZA w’olukiiko lwe Ggwanga olukulu Rebecca Alitwala Kadaga atadde ku nninga Minisita we nsonga z’omunda Jeje Odong okunyonyola ku nsonga yo Mubaka wa Gavumenti mu Disitulikiti ye Hoima eyawuttula omuwala emiggo emisana ttuku nga Ensi alaba.
Kinajjukirwa nti wiiki ewedde RDC we Hoima Richard Tabaro yakakkana ku muwala Elizabeth Kitunzi namukuba bwe baali mu kabbinkano ka kalulu k’okulonda omubaka omukyala akiikirira Disitulikiti ye Hoima.
Mu lutuula lwa Palimenti ku lw’okubiri Omubaka wa abavubuka Ann Adeke ayimuse nategeeza Sipiika nti yewunya lwaki Tabaro yakakkana ku kitunzi namukuba emiggo kyokka nga Kitunzi yali awereddwa omulimu gw’okulabirira eby’okulonda mu butongole mu Gombolola ye kapaki nga ayambako omu ku baali beesimbyewo.
Yagambye nti bwotunulira akatambi akakwatibwa olunaku olwo tolema kwewunya nkola ya RDC Tabaro, nti kubanga yakuba omukyala nga alinga akuba ente, kyagambye nti kyali kikolwa kibi ate ekiswaza naddala mu kiseera eggwanga nga lyali likyazizza abagenyi aba Palimenti ze Nsi ez’afugibwako e Ggwanga lya Bungereza.
” Twetaaga okumanya n’okukakasibwa okuva eri Minisita avunanyizibwa ku ba RDC, kubanga nga abakyala tuli beelarikirivu nnyo kubanga gye tugenda mu kulonda ba RDC bandyeyongera okutulugunya abakyala” Adeke bwe yategezezza.
Kadaga yagambye nti ayagala okulaba nga Minisita we nsonga z’omunda avaayo abeeko kyategeeza olukiiko lwe Ggwanga olukulu ku nsonga z’omubaka wa Gavumenti eyasiiwuka empisa mu lujjudde, kyagamba nti kyalaga ekifananyi kibi nnyo.
Abaddewo ku lwa Gavumenti nga ye Minisita omubeezi ow’ebyensimbi David Bahati agambye nti kituufu akatambi bakalaba era kakyabetakuza emitwe, nagamba nti ensonga bazikwasizza Poliisi enonyereze oluvanyuma baveeyo ne ky’okukola.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com