• Contact Us
  • About Us
  • Advertise
  • Donate
  • Login
Watchdog Uganda
Advertisement
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
    • Sports
      • Football
      • Motorsport
  • Business
    • Agriculture
    • Finance
    • RealEstate
    • Technology
  • Op-Ed
  • Entertainment
    • Lifestyle
    • Showbiz
  • People
    • Entrepreneurs
    • Stars
    • Politicians
  • Special Report
    • Education
  • Travel
  • Video
  • Luganda
No Result
View All Result
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
    • Sports
      • Football
      • Motorsport
  • Business
    • Agriculture
    • Finance
    • RealEstate
    • Technology
  • Op-Ed
  • Entertainment
    • Lifestyle
    • Showbiz
  • People
    • Entrepreneurs
    • Stars
    • Politicians
  • Special Report
    • Education
  • Travel
  • Video
  • Luganda
No Result
View All Result
Watchdog Uganda
No Result
View All Result

NRM telina gyelaga, abaagala okutuvuganya banuune ku vvu!! Haji Kigongo

Kizito Moses Buule by Kizito Moses Buule
2 years ago
in Luganda, National, News
13 0
NRM telina gyelaga, abaagala okutuvuganya banuune ku vvu!! Haji Kigongo

Haji Moses Kigongo wakati nabamu ku bakulembeze ba Region ez'enjawulo

Share on FacebookShare on Twitter

OMUMYUKA wa Ssentebe we kibiina kya NRM mu Ggwanga Al-Haji Moses Kigongo alabudde abali ku ludda oluvuganya Gavumenti ya NRM obutamala biseera nga beetegeka okuvuganya, nagamba nti ekibiina kya NRM kikyaliwo nnyo kuba eby’okukolera eggwanga bakyalina bingi.

Kigongo agamba nti bbo nga abali mu bukulembeze bwa Uganda mu kiseera kino tebayinza kukwasa buyinza bantu be yayogeddeko nga abatanetegeka nga buli kaseera bavuma buvumi Gavumenti ya NRM kyebeera ekoze.

Okwogera bino yabadde ayitiddwa okw’ogerako ne bannakibiina abalondebwa okuyambako Ssentebe wa NRM okusomesa bannaUganda okwekulakulanya nga batandikira mu maka gaabwe, okwenyigira mu ntekateeka za Gavumenti omuli ne bonna bagaggawale saako n’okulambika ebyo ebikoleddwa Gavumenti okuva lwe yakwasibwa obuyinza emyaka 3 egiyise okwabadde e Kyambogo ku offiisi za Ssentebe we Kibiina kya NRM Yoweri Kaguta Museveni.

Hill Water

Kigongo yakinoganyizza nti bakyaliwo nnyo mu buyinza kubanga bannaUganda bakyabalinamu obwesige bwamaanyi nagamba nti balina okutuukiriza ebigendererwa bye kibiina kya NRM  ebitambulira ku nnyingo 4 okuli Mwoyo gwa Ggwanga, Mwoyo gwa Africa eyawamu, Eddembe mu kwesalirawo saako n’okukyusa eby’enfuna bye ggwanga, era nga kati amaanyi bagatadde nnyo kukukyusa ebyenfuna mu maka abantu babeere bulungi.

Haji Moses Kigongo wakati nabamu ku bakulembeze ba Region ez’enjawulo

“Ffe abantu abakuze mu myaka ate nga ffe tuli mu bukulembeze tulabye ebintu bingi nga mukyo tetusobola kuleka bavubuka batalina mulamwa kuddamu kutabangula ggwanga lino lye twaleetamu emirembe” Kigongo bwe yagambye.

Lt. Edith Nakalema akulira akakiiko akatekebwawo Pulezidenti okulwanyisa obulyi bwe nguzi yagambye nti mu kiseera kino beefunyiridde nnyo mu kulwanyisa abasaba enguzi saako n’abo abagiwaayo, kye yagambye nti ssi kyangu naye nga kati balina we batuuse.

Yasabye abaabadde mu lukiiko luno okuloopanga abantu abasaba enguzi naddala abali mu bitongole bye by’okwerinda, abakola mu offiisi za Gavumenti naddala ezigaba emirimu nagamba nti talina gwajja kuttira ku liiso wabula anakwatibwa ajja kuvunanibwa mu mateeka ge ggwanga.

BannaNRM abalondebwa Pulezidenti museveni okumuyambako mu bitundu eby’enjawulo mu lukiiko e Kyambogo

Ye akulira ekitongole kya Operation Wealth Creation Lt. Gen Charles Angina yategezezza abetabye mu lukiiko nti amaggye nga ojjeeko eky’okukuuma abantu n’ebyabwe ate era beetegefu okukolaganira awamu nabo mu byenkulakulana naddala ennyigiza mu maka nga mukama wabwe Pulezidenti bwe yabalagira.

Yagambye nti byonna eby’etagisa naddala mu bulimi babilina, era nga buli kadde babisindika ku ma Disitulikiti okwetoloola eggwanga nasaba bannaUganda okukomya okulera engala wabula baveeyo bakole endokwa bazisimbe, ebisolo babilunde bafunemu ensimbi basobole okwejja mu bwavu.

Akulira eby’emirimu mu offiisi ya Ssentebe wa NRM e Kyambogo muky. Milly Doka Babalanda yasabye abalondebwa ku buli mutendera okuvaayo okwogerera ekibiina kya NRM ebilungi bye kikoledde abantu awatali kwetiririra kubanga baakizudde nti be batuufu era omukulembeze we ggwanga abalinamu obwesige bwamaanyi.

 

 

 



Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com

Share3Tweet2Send
Previous Post

PROFILE: Who is Denis Onyango, Uganda Cranes’ Mr Safe Hands?

Next Post

15 Types of Men to Avoid Dating at All Costs

Next Post
15 Types of Men to Avoid Dating at All Costs

15 Types of Men to Avoid Dating at All Costs

Subscribe to Our Newsletter

Our news in your inbox. Subscribe to receive Watchdog Uganda news in your email at no cost.

Check your inbox or spam folder to confirm your subscription.

Facebook Twitter

Contact Information

Plot 23, Yusuf Lule Road
PO Box 7661 Kampala, Uganda
Office Line: +256 777 286 815
Email: editorial@watchdoguganda.com
To Advertise:Click here

© 2020 Watchdog Uganda

No Result
View All Result
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
    • Sports
      • Football
      • Motorsport
  • Business
    • Agriculture
    • Finance
    • RealEstate
    • Technology
  • Op-Ed
  • Entertainment
    • Lifestyle
    • Showbiz
  • People
    • Entrepreneurs
    • Stars
    • Politicians
  • Special Report
    • Education
  • Travel
  • Video
  • Luganda

© 2020 Watchdog Uganda

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Create New Account!

Fill the forms below to register

All fields are required. Log In

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In