Kasita lwengo wenajiggya ne wengituusizza mulabyewo,kaakati n’abalala kabakwatemu ekyuma .
Mubutuufu toyinza kuba mukulembeze ng’abantu bokulembera bategeerera ku kibooko,wano nabazimbisa kaabuyonjo ku kibooko,okulima emmere mwakolera ku kibooko,abakeera mu mabaala kibooko abaffe mwali mulowooza ngenda kukyama mu kabuyonjo zammwe? Mutabaazi bwe yabuuzizza abantu ababadde beetabye mu gumu ku musomo gwa balimi be mwanyi ogw’abadde e Kyazanga.
Yadde ng’omusomo guno gwabadde gugendereddwamu okwongera okugaziya mu bwongo bwabalimi nga bongera ku bungi bwe mmere etwalibwa mu mawanga gano n’okuyiga ennima ey’omulembe ebigambo bya Mutabaazi byatuuzizza abatuuze obufofofo nga bagamba nti okutuuka wano webali abadde ye era bwaba abaabulidde batuuse okudda emabega.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com