POLIISI etandise okunonyereza ku bigambibwa nti omuntu omu yakubiddwa amasasi mu kiro ekyakeesezza olwaleero bwe yabadde agezaako okwagala okunyaga ebirabo okuva mu Ekelezia e Rubaga.
Kigambibwa nti ono teyabadde yekka, wabula yabadde nabalala mu Kabinja era olwalabye munaabwe nga akubiddwa ataawa ne bateekako kakokola tondeka nnyuma.
Okusinziira ku amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala ne miriraano Luke Owoyesigyire agambye nti omukuumi akuuma ekeleziaa ye yalabye abantu batategeera, era bwe yagezezaako okubabuuza kye baagala ku Ekelezia ne bamusikirayo abyambe ebyoogi nga baagala okumutema bwatyo naakubako omu essasi naafa.
Agambye nti abalala olwabadde okuwulira essasi elivuga ne baduma oluvanyuma lw’okulaba munaabwe nga agudde ku ttaka ataawa.
Bino byonna byabaddewo ku ssawa nga 9 ez’okumakya, era nga kirowoozebwa nti ababbi baabadde baagala kubba biwebwayo bye baalowozezza nti bingi byasigadde mu Ekelezia oluvanyuma lw’okubaayo okusaba kwabanakatemba n’abayimbi ku lw’okusatu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com