• Contact Us
  • About Us
  • Advertise
  • Donate
  • Login
Watchdog Uganda
Advertisement
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
    • Sports
      • Football
      • Motorsport
  • Business
    • Agriculture
    • Finance
    • RealEstate
    • Technology
  • Op-Ed
  • Entertainment
    • Lifestyle
    • Showbiz
  • People
    • Entrepreneurs
    • Stars
    • Politicians
  • Special Report
    • Education
  • Travel
  • Video
  • Luganda
No Result
View All Result
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
    • Sports
      • Football
      • Motorsport
  • Business
    • Agriculture
    • Finance
    • RealEstate
    • Technology
  • Op-Ed
  • Entertainment
    • Lifestyle
    • Showbiz
  • People
    • Entrepreneurs
    • Stars
    • Politicians
  • Special Report
    • Education
  • Travel
  • Video
  • Luganda
No Result
View All Result
Watchdog Uganda
No Result
View All Result

Eby’obufuzi e Mukono Bitabuse! Bakaluba yesozze Dp, Kagimu alumbye Nambooze, Ssimbwa amaliridde okujjayo Kafeero

Kizito Moses Buule by Kizito Moses Buule
2 years ago
in Luganda, National, News
31 3
Eby’obufuzi e Mukono Bitabuse! Bakaluba yesozze Dp, Kagimu alumbye Nambooze, Ssimbwa amaliridde okujjayo Kafeero

Okuva ku kkono Kagimu, Bakaluba Mukasa amuddiridde mu ttaayi emyufu, Norbert Mao ne Fred Ssimbwa mu lukiiko nga babanjula saako n'okubakwasa bendera bagende bavuganye

ShareTweetSendShare

EMBEERA ye by’obufuzi mu Disitulikiti ye Mukono abagitunulira bagamba nti bituuse we binyumira anti abantu ab’enjawulo batandise okulamuza ebifo mwe bagenda okuvuganyiza.

Kino kiddiridde olukiiko olwatudde ku Festino Cite ku lw’okutaano oluwedde era nga abantu abasinga bewunyizza eby’abaddewo nga Pulezidenti wa Dp Norbert Mao azze saako n’abakulembeze b’ekibiina abalala, era nga wano ekyasinze okwewunyisa bannaMukono ye Munnabyabufuzi era eyaliko omubaka wa Mukono North ebisanja 2, saako ne Mukono South ekisanja kimu, era nga abadde munna NRM lukulwe Rev. Peter Bakaluba Mukasa okwesogga ekibiina kya Democratic Party saako ne kisinde kya People Power mu lujjudde.

Era nga wano yayatudde nga bwagenda okuvuganya ku kaadi y’ekibiina kya DP ku kifo ky’obwaSsentebe bwa Disitulikiti ye Mukono ekilimu munna NRM Andrew Ssenyonga mu kiseera kino.

Yuasa

Mao yamwanirizza era n’amukakasa nti tewali buzibu kayatudde ekisoboka kijja kukolebwa okulaba nga afuna kaadi asobole okuvuganya.

Kati kitegeeza nti ono agenda kuvuganya mu kamyufu k’ekibiina ne Godfrey Kiregga Musisi saako ne Derrick Mutema okulondako anattunka ne munna NRM anaaba ayiseemu mu kamyufu k’ekibiina kyabwe.

Bakaluba Mukasa abadde ajja aky’ogera lunye ku mikutu gy’amawulire egy’enjawulo nga bwe yayabulira ekibiina kya NRM era nga kati enjiri abuulira ya People Power ne DP nga agammba nti kuluno asazeewo okukyusaamu nga ensonga gy’asinga okwemulugunya eri nti mu NRM tafuniddemu bwenkanya.

Mu Munisipaari ye Mukono mwo abatunulizi b’eby’obufuzi bagamba nti mugenda kubaamu okuvuganya okutalabikangako kubanga Meeya aliko kati George Fred Kagimu owa DP amaliridde okuvuganya munna DP Betty Nambooze Bakireke abaddeyo ebisanja 2 n’emyaka 2, nga kino kizze kyeyoleka lunye kubanga mu lukungaana lwa DP olwatudde ku lw’omukaaga Pulezidenti Mao yamukwasizza ebendera ye kibiina nga akamu ku kabonero akamukkiriza okuvuganya ku kaadi ye kibiina.

Kagimu awagagirwa nnyo munna People Power Robert Kyagulanyi Ssentamu nga kino kyeyolekera ku mirundi gyazze amukyaza mu munisipaari ye Mukono nga kwotadde ne mu makaage.

Essaza lye Nakifuma, eno abatunulizi bagamba nti kuluno bwe kataligirya ekitundu kino kyandigenda ku ludda oluvuganya Gavumenti kubanga munna kisinde kya People Power era nga wa DP omulangira Fred Ssimbwa naye yesomye okuvuganya munna NRM Kafeero Ssekitoleko abaddeyo ebisanja 2.

Kino kitegeeza nti ono agenda kuvuganya ne n’omukozi w’okuleediyo ya CBS Patrick Mujjuuka, kyokka nga n’eyaliko omubaka mu kitundu kino Mugambe Kifaomusana alabika akomawo.

Ku ky’omukyala wa Disitulikiti nga kino kilimu munna NRM Peace Kusasira Mubiru alabika nga atakyalina bwagaazi kudda kifo kya bubaka, kati Margret Nakavubu Bakubi munna NRM yesomye okuvuganya, ekifo kino era waliwo abantu abalala abagaala okukivuganyaako okuli ne yaliko omubaka omukyala owa Disitulikiti Margret Nalugo Ssekiziyivu saako n’atwala eby’emirimu ne nsimbi ku Disitulikiti Anna Lubuulwa, saako ne munnaDp Hanifah Nabukeera.

E Mukono South, eno nga eliyo munnaNRM Johnson Muyanja Ssenyonga era nga ye Ssentebe wa babaka abava mu kitundu kya Buganda, obubonero bwonna bulaga nti bagenda kuvuganya n’eyaliko Ssentebe wa Disitulikiti ye Mukono Francis Lukooya Mukoome, saako ne munna Dp Fred Kayondo nga ono bavuganyako bombi mu kalulu akawedde era nakwata kyakusatu, mu balala abatannaba kujjayo nnyo mutwe naye nga obubonero bwonna bulaga nti bagenda kuvuganya kuliko Ssentebe we Gombolola ye Nakisunga Mubarack Mubiru Ssekikubo.

 Mukono North eno nga eliyo munna NRM Ronald Kibuule era nga ono ye Minisita omubeezi owa mazzi, ono kati kyeraga lwatu nti agenda kuvuganya ne munna NRM munne Keneth Nsubuga Sebagayunga era nga ono baavuganya bonna mu kalulu akawedde n’akwata eky’okubiri yadde nga yakomawo nga atalina ludda oluvanyuma lw’okuwangulwa mu kamyufu lk’ekibiina.

Bano bagenda kuvuganya ne munnaDP Abudallah Kiwanuka eyakwata eky’okusatu mu kulonda okwaggwa.

 

 

 



Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com

Share7Tweet4SendShare
Previous Post

Mukono school gets PWD-friendly latrine facility 

Next Post

Webale kutuwonya mize gya bazungu emikyamu, Bp. Luwalira atenderezza Arc Bp. Ntagali

Next Post
Webale kutuwonya mize gya bazungu emikyamu, Bp. Luwalira atenderezza Arc Bp. Ntagali

Webale kutuwonya mize gya bazungu emikyamu, Bp. Luwalira atenderezza Arc Bp. Ntagali

Subscribe to Our Newsletter

Our news in your inbox. Subscribe to receive Watchdog Uganda news in your email at no cost.

Check your inbox or spam folder to confirm your subscription.

Facebook Twitter

Contact Information

Plot 23, Yusuf Lule Road
PO Box 7661 Kampala, Uganda
Office Line: +256 777 286 815
Email: editorial@watchdoguganda.com
To Advertise:Click here

© 2020 Watchdog Uganda

No Result
View All Result
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
    • Sports
      • Football
      • Motorsport
  • Business
    • Agriculture
    • Finance
    • RealEstate
    • Technology
  • Op-Ed
  • Entertainment
    • Lifestyle
    • Showbiz
  • People
    • Entrepreneurs
    • Stars
    • Politicians
  • Special Report
    • Education
  • Travel
  • Video
  • Luganda

© 2020 Watchdog Uganda

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Create New Account!

Fill the forms below to register

All fields are required. Log In

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In